TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oguvunaanibwa aba Goodlyfe okulebula Jeff guzuukusiddwa

Oguvunaanibwa aba Goodlyfe okulebula Jeff guzuukusiddwa

By Musa Ssemwanga

Added 31st July 2017

Omusango ogwawawaabirwa abayimbi ba Goodlyf; Moze Radio (Sekibogo) ne Weasal (Douglas Mayanja) guzuukusiddwa.

Saba1 703x422

Omusango ogwawawaabirwa abayimbi ba Goodlyf; Moze Radio (Sekibogo) ne Weasal (Douglas Mayanja) guzuukusiddwa.

Bano emabegako baawawaabirwa Jeff Kiwanuka, eyali maneja waabwe nga kati y'atwala Sheebah oluvannyuma lw'okufulumya akatambi ku mukutu gwa 'Facebook' akamukomerera nga bwe yeenyigira mu bikolwa by'ekirogo.

Kina kyaliwo mu kiseera  Jeff Kiwa bwe yakwatibwa n'aggalirwa ku byali bigambibwa nti yalina akakwate ku musango gw'okusaddaaka omwana Joel Ogema ow'emyaka 6.

Jeff Kiwa yabasaba okuggyayo akatambi kano, okumuyirira akawumbi kamu kw'ossa n'okuvaayo beetonde mu lujudde, ekintu ekyabalema n'abaggulako omusango ng'ayita mu balooya ba  Muwema and Co. Advocates.

Bano be bazuukusizza omusango oluvannyuma lw'abayimbi ba Goodlyfe okwebulankanyanga ne batalabika mu kkooti nga bwe baabasaba.

Ku nsonga eno, abayimbi bombi bagaanye okujogerako ne bajuliza looya waabwe naye atasobodde kufunibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam