TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Ow’akakiiko k’ebyokulonda e Kenya eyabula bazudde mulambo

Ow’akakiiko k’ebyokulonda e Kenya eyabula bazudde mulambo

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2017

BANNAKENYA baguddemu ekyekango omukungu w’akakiiko k’Ebyokulonda bw’asangiddwa ng’atugumbuddwa oluvannyuma lw’ennaku ssatu ng’abuziddwaawo.

C129ca2a75f811e7a3e860495fe6ca71 703x422

Chris Musando eyazuuliddwa nga mufu

Omulambo gwa Chris Musando, abadde akulira ebya kompyuta (ICT) mu kakaiiko k’ebyokulonda aka Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) guzuuliddwa n’ebinuubule eby’amaanyi ng’ogumu ku mukono gutemeddwaako.

Guzuuliddwa mu kabuga k’e Kikuyu mu ssaza ly’e Kiambu nga kigambibwa nti eyo abantu abatannamanyika gye baamuttidde oluvannyuma lw’okumubuzaawo ku Lwokutaano.

Emmotoka ye ey’ekika kya Land Rover Discovery ye yasoose okuzuulibwa ku Ssande emabega wa Thika Road Mall ku Thika Superhighway n’etwalibwa ku Kasarani Police Station.

Akulira akakiiko k’Ebyokulonda , Wafula Chebukati y’omu ku bagenze mu ggwanika mu kibuga Nairobi okulaba ku mulambo gwa Musando.

Ekigendererwa eky’okutemulwa kwa Musando tekinnamanyika wabula okuttibwa kwe kwongedde okwewanisa Bannakaneya emitima nga beetegekera okulonda kwa wiiki ejja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...