TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mao akunze abantu bonna okuwagira Obwakabaka bwa Buganda

Mao akunze abantu bonna okuwagira Obwakabaka bwa Buganda

By Muwanga Kakooza

Added 1st August 2017

PULEZIDENTI wa DP Nobert Mao akunze abantu bonna omuli n’abatali Baganda okuwagira n’okwagala Obwakabaka bwa Buganda ng’agamba nti we butali n’abafuzi b’ensikirano abalala mu Uganda baba boolekedde okusaanawo.

Mawo1 703x422

Pulezidenti wa DP Nobert Mao (kkono) ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire. Ku ddyo ye yavuganya ku bubaka bwa palamenti mu Lubaga South, Francis Kizito. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

PULEZIDENTI wa DP Nobert Mao akunze abantu bonna omuli n’abatali Baganda okuwagira n’okwagala Obwakabaka  bwa Buganda ng’agamba nti we butali n’abafuzi b’ensikirano abalala mu Uganda baba boolekedde okusaanawo.

Mao era avuddeyo ku muvubuka William Ntege  amanyiddwa nga ‘Kyuma kya Yesu’ eyasinzidde ku mukolo gw’okukuza amattikira ga Kabaka  n’agwa  omubaka Simeo Nsubuga mu malaka ng’amulanga okuwagira Pulezidenti Museveni, n’agamba wadde DP eri mu kampeyini za kuwakanya kukyusa kawaayiro kaggya kkomo ku myaka 75 ayagala obwapulezidenti gy’alina obutasussa, tewagira bya kulwanagana na bawagira Museveni.

Kyokka asiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’okusonyiwa omuvubuka ono ‘Kyuma kya Yesu’  n’agamba nti obubalagaze abawakanya Pulezidenti Museveni bwe balina  babutegeera.

Mao bino abyogeredde mu lukung’ana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala n’ayozayoza Kabaka olw’okutuuka ku mattikkira ge ag’emyaka 24 ng'ali ku Nnamulondo ya bajjajjaabe alamula Obuganda.

Agambye nti Obwabaka bwa Buganda bukoze ebintu bingi era bulina okuwagirwa n’okubeerawo kuba okubuggyawo  n’obufuzi bw’ensikirano obulala  buba bwolekedde okusaanawo.

‘’Sseggwanga bwe bagimenya obuwawaatiro teri (mukulembeze wa nnono) asigala..’’  Mao bw’agambye.

Ategeezezza nti wadde tava mu Buganda naye ewaabwe waliyo omufuzi w’ensikirano era kw’asinziira okwagala Obwabaka bwa Buganda.

Ategeezezza nti Obwakaba bukoze ebintu bingi omuli okugatta abantu n’okubagazisa eby’obuwangwa byabwe omuli n’Olulumi Oluganda lw’ategeezezza nti musasaanidde ebintu bya Uganda byonna.

Ayongeddeko nti Obwaka buyambye abantu okufuna obwananannyini ku ttaka nga buyita mu ‘kyapa mu ngalo’, okutumbula eby’enjigiriza ng’okusaaawo Muteesa 1 Royal Univeesity eyawa n’abantu b’omu bukiikakkono abaakosebwa entalo bbasale ne basobola okwefunira ku diguli.

Agambye nti Obwakabaka buzimbye eby’emizannyo mu bika n’amasaza, talina ensonga emugaana kubuwagira kuba bukuumye obumu mu bantu awatali kusosola mu ggwanga naddala emizannyom gy'amasaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.