TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Nkubakyeyo afeze abasuubuzi b'omu Kampala obukadde 100 n'adduka: Bamunoonya

Nkubakyeyo afeze abasuubuzi b'omu Kampala obukadde 100 n'adduka: Bamunoonya

By Meddie Musisi

Added 1st August 2017

Omukazi nkubakyeyo akomyewo e Uganda n'aleka ng'afeze abasuubuzi mu b'omu Kampala ensimbi ezisoba mu bukadde 100 n'adduka.

Kyeyo 703x422

Nabisere anoonyezebwa Poliisi. EKIF: MEDDIE MUSISI

Juliet Nabisere  60, y'anoonyezebwa poliisi oluvannyuma lw'okukozesa olukujjukujju n'aggya ku basuubuzi ensimbi.

Abasuubuzi mu kiseera kino abakaaba twawa okukira entulege kuliko; Haji Suleiman Kibirige ow'e Katwe ng'ono yamuggyeeko obukadde 50, Bridget Nakazibwe yamufezeeko obukadde 15, jackline Natukunda ono naye wa  bukadde  15.

Abalala be yafeze ssente  mu ngeri y'emu kuliko; Rose Kajungu, nnannyini dduuka lya  'Madam Rose' ku Luwum street ne  Joseph Balikuddembe.

Haji Kibirige ategeezeza nti Nabisere  okumufera, yasoose kumulimbalimba okumuguza mmotoka ye ekika kya Benz LM ku bukadde 150 n'asooka n'amuwaako 50 ng'amulaze empapula zaayo ezigikwatako kyokka oluvannyuma n'akizuula nga njingirire nga Nabisere talabikako!

Nabisere abasuubuzi baamuguddeko omusango gw'okubaggyako ensimbi mu lukujjukujju oguli Ku fayiro nnamba SD: 02/12/11/16.

Ensonda Ku poliisi ye Katwe zategeezeza nti Nabisere  yakwatiddwa namala enaku sattu mu kaddukulu ka poliisi kyokka nateekwa Ku kakalu ka poliisi naye bagenze okufuna amawulire agamukwatako ngalinnye ennyonyi nafuluma eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo