TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssente za Sudhir zirakidde Amina, Muwonge ne Ntaganda

Ssente za Sudhir zirakidde Amina, Muwonge ne Ntaganda

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd August 2017

OMUGAGGA John Bosco Muwonge, omu ku babifeekera abasinga ebizimbe ebingi mu Kampala ali mu kattu, bwe kizuuliddwa ng’abanjibwa obuwumbi 50 ze yeewola n’atasasula mu bbanka ya Sudhir Ruparelia eyaggalwa.

Oasis1 703x422

Amina nnannyini Oasis Mall. Mu katono ye Sudhir

Bya MUSASI WAFFE

OMUGAGGA John Bosco Muwonge, omu ku babifeekera abasinga ebizimbe ebingi mu Kampala ali mu kattu, bwe kizuuliddwa ng’abanjibwa obuwumbi 50 ze yeewola n’atasasula mu bbanka ya Sudhir Ruparelia eyaggalwa.

John Bosco Muwonge y’omu ku bagagga bannannyini makampuni 22, agaazuuliddwa nga geewola obuwumbi 500 n’obukadde 300 okuva mu Crane Bank kyokka ne batazisasula ekyavaako banka eno okugwa.

Lipooya eno yakolebwa kkampuni y’ababazi b’ebitabo eya Pricewaterhouse Coopers mu December 2016, mu kiseera Bank Enkulu eya Uganda bwe yali yeddiza Crane Bank ne kizuulibwa nti ssente zaali zigiggwaamu ku sipiidi ya yiriyiri.

Banka Enkulu yeddiza Crane Bank nga October 20, 2016 oluvannyuma lw’okukizuula nga Sudhir yali banka agiddukanyiza wabweru w’amateeka ga Bbanka Enkulu era nga ne ssente kyenkana zigiweddeko.

 

Nga January 27, 2017 Banka Enkulu yatunda Crane Bank nga yagiguza banka ya dfcu ku nsimbi ezitamanyiddwa muwendo.

Lipoota ya PricewaterhouseCoopers eyakolebwa mu December 2016, yazuula emivuyo mingi naddala mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka omugagga Sudhir bye yeenyigiramu omuli n’okukozesa ssente ez’abateresi by’ayagala.

Abagagga 22, beewola ssente mu Crane Banka nga ssente zaabaweebwa Sudhir nga tagoberedde misoso, emitendera n’obukwakkulizo banka mwe ziyita okuwola era lipoota yasembye abagagga n’amakampuni gaabwe banoonyerezebweko n’okubasesemya ssente za banka ze beewola ne batasasula.

Lipoota yalaze nga John Bosco Muwonge ng’ayita mu kkampuni ye, eya Boost Investments Limited (Boost) yeewola enfunda ttaano wakati wa August 11, 2014 ne October 20, 2015 nga awamu yeewola obuwumbi 60 okuva mu Crane Bank.

Banka Enkulu bwe yeddiza Crane Bank nga October 20, 2016, John Bosco Muwonge yali abanjibwa obuwumbi 50 n’obukadde 300 era Lipoota yasembye azikomyewo.

Ng’oggyeeko Muwonge, abagagga abalala ababanjibwa kuliko;

Amina Hersi Moghe nnannyini Oasis Mall n’amayumba ag’ebbeeyi agayitibwa Laburnam Courts nga ssente yazeewola ayita mu kkampuni ez’enjawulo, Amina Hersi abanjibwa obuwumbi 111.

Yeewola ng’ayita mu kkampuni okuli; Khadhar, Horyal, Minutan ne Aureco era lipoota yazudde nti kkampuni ezimu kirabika Amina yazitondawo kwewola ssente oluvannyuma ne ziggalwa.

Abagagga abalala ababanjibwa Crane Bank okusinziira ku Lipoota eno kuliko: Leonard Bob Kanaabi, Innocent Mutabaruka, Ali Mohammed ne Yoosuf Mohamed nga bano baali banywanyi ba Sudhir mu makampuni ge ag’enjawulo.

Lipoota yalaze nti Kanaabi, y’omu ku balina emigabo mu kkampuni ya Logic Real Estates and Developers Limited era nga bakozi b’omugagga Ephraim Ntaganda, omu ku beekinywi ne Sudhir.

 

Waliwo n’ensimbi obuwumbi 101 n’obukadde 200 ezaalagiddwa mu lipoota nga zaali looni ezeewolebwa kkampuni ennene n’abagagga kyokka kyazuuliddwa nga Sudhir yazisonyiwa abaazeewola mu ngeri etategeerekeka nga kirowoozebwa nti waaliwo ekkobaane.

Lipoota yalaze nga ssente ezo zaali zeewolebwa mu looni 180 wabula ensimbi ezisinga obungi nga zisoba mu buwumbi 92 zaali zeewolebwa Kkampuni 11 okuli;

l. Megabells Electronics: 21,791,341,777/-

2. Infinity Investments: 20,266,566,713/-

3. Lake Vict Comm Tech & Bi-Tech: 11,863,852,786/-

4. Joseph Charles Roy: 8,331,189,757/-

5. Ssebagala &Sons Electro Cente: 8,300,2 54,098/-

6. H.M. Nsamba And Sons: 6,194, 970,271/-

7. Intertrade Services: 5,35 7,910,462/-

8. Elsa Boutique Limited: 3,185,831,589/-

9. Uganda Fish Packers: 2,699,693,520/-

10. Amr Food & Beverage Company: 2,427,496,565/-

11. Swift Commodities: 1,700,000,000/-

Palamenti mu lutuula lwayo eggulo ku Lwokubiri olwakubiriziddwa omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah yayimirizza okuteesa ku kiteeso abamu ku babaka kye baabadde baleese okubuuliriza ku bunafu n’obulagajjavu Banka Enkulu bwe yayolesezza ng’obumenyi bw’amateeka n’emivuyo bigenda mu maaso okumala emyaka mu banka ya Crane ey’omugagga Sudhir.

Ekiteeso kyayanjulwa Nathan Nandala Mafabi (Budadiri West) ku Lwokuna oluwedde ne kisembebwa Raphael Magyezi (Igara West) ne Michael Kabaziguluka (Nakawa) wabula kyajulidde okutuuka wiiki eno.

Oulanyah yategeezezza nti yafunye ebbaluwa bbiri nga bamutegeeza nti omusango ku nsonga eno guli mu kkooti noolwekyo ensonga teyinza kukubaganyizibwako birowoozo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano