TOP

Ntege eyabadde atuga Simeo Nsubuga akyawera

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd August 2017

WILLIAM Ntege 39, amanyiddwa nga ‘Kyuma kya Yesu’, akyawera okwongera okuwa essomo ababaka naddala abava mu Buganda singa banaagenda mu maaso okweyisa n’okwogera ebintu ebitayamba Buganda ne Uganda.

Kyuma1 703x422

Ntege (Kyuma kya Yesu) ne Simeo

Bya AHMED MUKIIBI, KIZITO MUSOKE, HANNINGTON NKALUBO NE JOSEPH MUTEBI

WILLIAM Ntege 39, amanyiddwa nga ‘Kyuma kya Yesu’, akyawera okwongera okuwa essomo ababaka naddala abava mu Buganda singa banaagenda mu maaso okweyisa n’okwogera ebintu ebitayamba Buganda ne Uganda.

Ntege yagudde ekiyiifuyiifu ku mubaka Simeo Nsubuga (Kassanda South) n’abulako katono okumusikamu eddookooli ng’eno bw’awera nti, “ Tojja mu maaso ga Ssaabasajja , ddayo tetukwetaaga.

”Singa teyabadde Kato Lubwama (Lubaga South) eyayanguye n’akwata Ntege mu bulago, omubaka Simeo singa anyiga biwundu.

Olwamutakkuluzza ku Simeo, Kyuma kya Yesu yenna nga bw’asuukiira, yagambye nti, “Simeo genda olye enkoko yo.”

Baamuwazewaze okumutwala ku poliisi nga bw’awera okuwa abalala essomo.

Kyuma Kya Yesu yagasseeko nti kati abuzaayo omubaka Kafeero Ssekitooleko ow’e Nakifuma naye gw’alumiriza nti awagira okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti okwesimbawo n’alabula nti ababaka nga bano ajja kubafiirako.

Yagambye nti ababaka abamu baava ku mulamwa gw’abantu abaabatuma ng’obuvunaanyizibwa bw’okubakangavvula buli eri bantu nga ye.

Baamusibidde ku poliisi e Mubende gye baamugguliddeko emisango ebiri; okuli ogw’okukuba omuntu, n’ogwokusasamaza abantu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Nobert Ochom yategeezezza nti poliisi yagguddewo fayiro CRB 109/2017 ku Kyuma kya Yesu.

Yagasseeko nti Kyuma kya Yesu (Ntege) baamututte n’ew’omusawo okumukebera omutwe okukakasa nti ddala mulamu.

Simeo eyalabise ng’atidde oluvannyuma lwa Kato Lubwama okumutaasa ku Ntege, yalinze omukolo gwa Kabaka ne guggwa n’alyoka ava e Kaweeri nga kumpi abantu bonna baweddewo era yawerekeddwaako poliisi okukakasa nti tatuusibwako bulabe.

Yakedde ku poliisi e Mubende ku Lwokubiri okukola sitatimenti n’alumiriza nti waliwo abooludda oluvuganya okuva e Kampala abaasasudde Ntege okumukolako effujjo era nti waliwo olukwe olugazi olw’abooludda oluvuganya okutuusa obulabe ku ba NRM kyokka ye musajja mutendeke abadde mu mbeera enzibu ennyo e Somalia ne South Sudan.

 

NJA KUBONGERA- NTEGE

Ensonda ku Poliisi e Mubende zaategeezeza nti Ntege awera nti talina kwejjusa kwonna ku kye yakoze Simeo wabula yanenyezza Kato Lubwama eyamulemesezza okukangavvula omubaka ono.

Kyuma kya Yesu yagambye nti ayise mu mbeera ey’okutulugunyizibwa Poliisi n’okusibwa ng’alwanirira eddembe lye n’ery’abantu abalala era mweteefuteefu okugenda mu maaso n’okuwa ababaka ba Palamenti essomo basobole okukomya okukola n’okwogera ebitayamba ggwanga.

SIMEO YEEKUBIDDE ENDUULU MU PALAMENTI

Simeo olwavudde e Mubende okukola sitatimenti, yasibidde mu Palamenti n’ayongera okulumiriza ababaka b’oludda oluvuganya nti be baaluse olukwe.

Yategeezezza Palamenti eyabadde ekubirizibwa Jacob Oulanyah nga bwe yalumbiddwa abavubuka abaagezezzaako okumulemesa okutuuka mu maaso ga Kabaka.

Yasabye ababaka naddala aba NRM okuweebwa obukuumi kuba basusse okutiisibwatiisibwa.

Moses Kasibante (Lubaga North) ne Betty Nambooze (Mukono Municipality) baanenyezza Nsubuga okuleeta ensonga eno mu kifo ekikyamu, nga yabadde asaanidde kuwaaba Mmengo kuba baabadde ku mukolo gwa Bwakabaka.

Sipiika Oulanyah yanenyezza ababaka okugenda mu maaso nga boogera ku nsonga y’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti kuba ensonga eno tejjangako mu Palamenti era nga ne Gavumenti yatangaaza dda nti tebalina nnongoosereza ku myaka gya pulezidenti.

KYUMA KYA YESU Y’ANI?

  • Amannya age amatuufu ye William Ntege ‘Kyuma kya Yesu’ era ng’amanyiddwa ng’owaamawulire era omubuulizi w’enjiri y’oku luguudo.
  •  Yakolerako ku WBS ne ku mikutu gya ttivvi egiwerako kyokka nga tabandaalayo n’avaayo.
  • Mu kiseera kino talina mukutu gw’amawulire gwa nkalakkalira gw’akolera, wadde atera nnyo okubeera n’abaamawulire. l Ebiseera ebisinga abeera nnyo ku luguudo lwa Kyaggwe Road okuliraana awaali akatale ka Kisekka ng’abuulira enjiri.
  • Azze akola ebitali bya bulijjo. Lumu yalumbako ekitebe kya poliisi bwe kyali kikyali ku Parliamentary Avenue ne yeesiba enjegere ng’ayagala poliisi emuddize kkamera ye gye baali bayonoonye.
  • Olutalo lwe ne poliisi ng’ayagala bamugulire kkamera endala, lwamutuusa n’okusitula abaana be basatu n’agumba ku kitebe kyayo e Naggulu.
  • Olumu abaserikale ba Palamenti mu 2014, baamuwuliramu omusera bwe yagenda mu Palamenti ne yeesiba enjegere ku mirabba gya Palamenti. Okumuggya mu Palamenti kwali kusiitaana kuba yali agugubye.
  • Yaggyayo foomu z’okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2015, kyokka n’atazizzaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...