TOP

‘Ababagoba ku ttaka mubasibe emiguwa

By Henry Nsubuga

Added 2nd August 2017

MINISITA wa guno na guli, Haji Abdu Nadduli alagidde abantu abagobwa ku byalo basibe abagobaganya emiguwa, bamukubire ajje abakoleko.

Nadduli1 703x422

Haji Nadduli (ku ddyo) ng’ayogera eri abagobwa ku ttaka e Mpunge mu Mukono.

Bya Henry Nsubuga

MINISITA wa guno na guli, Haji Abdu Nadduli alagidde abantu abagobwa ku byalo basibe abagobaganya emiguwa, bamukubire ajje abakoleko.

Bano bagobwa ku byalo 11 ku 20 ebikola eggombolola y’e Mpunge mu disitulikiti y’e Mukono.

Alice Nampiima ssentebe wa NRM mu ggombolola yategeezezza nti ebyalo bino kuliko; Mengo, Katale, Buzu, Mbale, Mpunge, Wansinga, Mbazi, Lulagwe ne Muvo.

“Nkwatibwa ennaku okulaba ng’abantu abakaddiyidde ku ttaka lino nga baziiseeko n’abantu baabwe ate bagobaganyizibwa.

Ettaka lino lya Gavumenti (Public Land)naye abantu be tutamanyi nga ffe abakulembeze bavaayo n’ebyapa nga n’ettaka gye liri tebamanyiiyo ne batiisatiisa okugoba abantu.

Ntambudde ofiisi okuzimalayo ze nsuubiramu obuyambi nga ntya nti abantu bano bwe babagoba olwo 2021 obululu bwa Pulezidenti Yoweri Museveni ndibunoonya mu miti!” Nampiima omwennyamivu bwe yategeezezza.

Yanokoddeyo abagagga omuli Henry Ssaabaganzi eyaliko omukozi ku disitulikiti y’e Mukono, Brenda Nabukenya, omubaka wa Buvuma, Robert Migadde n’abalala. Ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Twahir Ssebaggala yategeezezza Nadduli nti ng’ekibiina ekiri mu buyinza, baasalawo okulwanirira abantu bano okulaba nga tebagobwa mu bukyamu.

Ssebaggala yagambye nti, baatuuka n’ewa Minisita omubeezi ow’amazzi mu ggwanga, Ronald Kibuule n’abasindika ewa Nadduli naye eyasitukiddemu. Abatuuze beekokkola obukulembeze okuviira ddala ku kyalo, oweggombolola, ssentebe wa disitulikiti Andrew Ssenyonga n’omubaka waabwe Johnson Muyanja Ssenyonga be baagambye nti babatuukiridde enfunda eziwera naye tebabayambye. Edward Ssemutumba yagambye nti, bo ng’abantu ba wansi tebabalabamu mugaso, batinkiza na bagagga abaagala okubagoba nga tebayise mu mateeka.

Minisita Nadduli yagumizza abatuuze nti, tewali agenda kubagoba ku bibanja byabwe nga gavumenti ya Museveni y’eri mu buyinza. Yabasabye okukomya okutuula obutuuzi ng’abagagga babagobaganya n’abasaba okukwata omu ku bagagga anaddayo okugenda gye bali ng’abagoba bamusibe ku miguwa olwo bamuyite amukoleko! Yasuubizza okukuhhaanya fayiro zonna ezikwata ku nsonga z’abatuuze abagobaganyizibwa azitwale mu kakiiko akabuuliriza ku nsonga z’ettaka akakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire, kazibuulirizeeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.