TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura agudde ku ba Poliisi y'e Nansana nga tebategedde

Kayihura agudde ku ba Poliisi y'e Nansana nga tebategedde

By peter ssaava

Added 4th August 2017

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura asomoozezza abaserikale ku poliisi y'e Nansana abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba mu kuyamba abantu, ekintu ekiviiriddeko ettemu okweyongera mu kitundu.

Kayihura3 703x422

Kayihura agenze ku poliisi ye Nansana leero nga talina muserikale yenna gw'ategeezezzaako era bonna bamwakanze bwekanzi.

Ekiggye Kayihura enviiri ku mutwe kwe kusanga ng'abantu abazze okubayamba mu kisango egyenjawulo bayimiridde buyimirizi, tewali abayamba.
Asokedde mu ofiisi ekola ku nsonga z’abaana n’amaka ng’eno asanze abaserikale bali mu mboozi so nga abazze okuyambibwa ku nsonga ez’enjawulo batuuziddwa wabweru.
Ategezezza nti afunye akasiisira mu Nansana mw'agenda okusula nga bw'akola ebikwekweto eby'enjawulo okufunza abazigu n'abamenyi b'amateeka abeefudde mukoko okutemula abatuuze mu kitundu.
Kayihura atadde abasibe babiri okuli; Grace Sseruwagi ne Martin Ssetuba abasangiddwa nga basibiddwa kyokka nga tebalina musango gwonna gwabagguddwaako.
Abatuuze baloopedde Kayihura ebizibu byabwe omubadde n’eky'omukyala Justine Teberamusa, nnannyini nnyumba poliisi y'e Nansana kw'epangisa.
Ono ategeezezza nti abanja obukadde 15 n'emitwalo 90 ze ez'obupangisa okuva mu 2009. Abamu ku baserikale basula mu pakingi ye eri okumpi ne poliisi y'e Nansana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Xmas2 220x290

Ssekukkulu eyengedde: Abaguzi n'abatunzi...

EMBEERA y’ekibuga atandise okufuuka eyakayissanyo olw’abasuubuzi ne bakasitoma baabwe okwetala nga beetegekera...

Hit1 220x290

Obulabirizi bw’e Mukono bukyusizza...

Obulabirizi bw’e Mukono bukyusizza abasumba

Kola1 220x290

Ab’e Kawempe balaajanidde KCCA...

ABATUUZE b’e Kawempe basabye ekitongole kya KCCA okukola ku nguudo ezirimu ebinnya ze bagamba nti zifuuse mpuku...

Han1 220x290

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye...

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...