TOP

Eyagaanye okusoma kitaawe amusibye omuguwa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th August 2017

Tiras Tazindula, eyalabye omwana n’ategeeza poliisi yagambye nti Kizito yasoose kumuwalulira mu luggya oluvannyuma n’amusiba ku muti gwa ffene nga poliisi we yamusanze.

Kaddu1 703x422

Kaddu ng’ali ku muti kitaawe kwe yamusibidde.

Bya SHAMIM NABUNYA

KITAAWE w’omwana eyagaanyi okusoma avudde mu mbeera n’amusiba ku muguwa ng’omubbi.

Abatuuze abaabadde bayitawo be baalabye omwana ono ng’asibidde ku muguwa ne bategeeza poliisi y’e Ndejje eyamusumuludde.

Nicholous Kaddu 13, asomera mu Lubugumu Umea Primary School e Ndejje mu P5, nga kitaawe Charles Kizito 55, ow’e Ndejje.

Tiras Tazindula, eyalabye omwana n’ategeeza poliisi yagambye nti Kizito yasoose kumuwalulira mu luggya oluvannyuma n’amusiba ku muti gwa ffene nga poliisi we yamusanze.

Omwana bwe yatuuse ku poliisi yategeezezza nti olumu akuba bulooka okusobola okufuna ssente ezigula ekyokulya ku ssomero nti taata we okugamba nti azannya zzaala mu kifo ky’okugenda ku ssomero alimba kuba okusoma akwagala.

Akulira poliisi y’e Ndejje, Henry Twebaze yategeezezza nti Kizito baamusanze asibye omwana ku muti gwa ffene bagenda kumugulako omusango gw’okutulugunya omwana ku fayiro nnamba SD REF 11/03/08/2017.

Twebaze yasabye abazadde obutakozesa bukambwe busukkiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...