TOP

‘Genda weebake e Luzira emyaka 30’

By Cathy Lutwama

Added 5th August 2017

OMULAMUZI wa kkooti enkulu e Mukono asindise Ali Nsubuga 27, ow’e Kirinnya mu kkomera e Luzira amaleyo emyaka 30 ogw’obutemu bwe gumusinze.

30 703x422

Owa poliisi ng’atwala Omala ate mu katono ye Bulani.

Bya ERIC YIGA

OMULAMUZI wa kkooti enkulu e Mukono asindise Ali Nsubuga 27, ow’e Kirinnya mu kkomera e Luzira amaleyo emyaka 30 ogw’obutemu bwe gumusinze.

Ogwamusinze gwa kutta eyali avuganya ku kifo ky’obwakansala bwa Ntawo ward ku kaadi ya NRM, Aidah Nakiguli 22, eyali abeera e Butebe.

Omuwaabi wa Gavumenti, Janet Kitimbo yategeezezza kkooti nti, mu kiro ekyakeesa olwa March, 23 2012 Nsubuga yatta Nakiguli omulambo n’aguleka mu nnyumba era gwazuulibwa baliraanwa enkeera.

Bano beekanga oluggi lwe nga terusibiddwa ng’ate balaba omusaayi ogwali gukulukuse. Nsubuga okukwatibwa, kyaddirira okumala okutta Nakiguli n’akubira abagambibwa okuba nga be baali bamutumye okukola omulimu ng’abateegeza nti guwedde. Eno poliisi gye yalumika n’emukwata.

Engeri Nakiguli gye yattibwamu Nsubuga yayingirira omugenzi ng’ava okucakala (Nakiguli) ne banne ku satellite bbiici.

Oluvannyuma lw’okumutta, omulambo yagubikka mu buliri. Yasooka kumukuba kalifoomu, n’amusobyako olwo n’alyoka amusala obulago, okumufumita mu mbirizi, okumusalako amabeere n’okumussaako ebiwundu tekako ebiwundu ku mubiri gwonna.

Ng’amaze okumutta, yabba ebintu by’omu nnyumba omwali ttivvi, omufaliso, essimu, DVD, wuufa n’ebirala.

Engeri gye baakwatamu abatemu

Nga beesigama ku kulumika essimu, Kitimbo yategeezezza nti, Ali Nsubuga eyali amanyiddwa nga Cobra ne Isaac Buyinza baakozesa essimu y’omugenzi 0702375117 okukubira Alex Muwanga nga March 23, 2012 ku ssaawa 12:20 ez’oku makya ne Muwanga n’akuba ku ssimu eno ku ssaawa 12:27.

Poliisi olwakwata Muwanga, yagitegeeza nti, Ali Nsubuga ne Isaac Buyinza be baakozesa essimu eno okumukubira nga bamutegeeza nga bwe baalina ebintu bye baali baagala okumuguza era nga baali baakusisinkana mu kabuga k’e Kirinnya.

Muwanga yalwawo okujja era agenda okutuuka okubakubira ne bamutegeeza nga bwe yali aluddewo era nti baali bamaze okubitunda.

Omulamuzi yeesigamye ku bujulizi buno n’asingisa Nsubuga omusango gw’obutemu.

Nakiguli y’ani?

Muwala wa Teddy Ndagire ow’e Butebe.

Mu 2011 yavuganyaako ku kifo ky’obwakansala okukiikirira abantu ba Ntawo ward ku kaadi ya NRM wabula n’awagulwa munna DP, Betty Nakasi.

Yali akola emirimu okwali okusiika cipusi ne muwogo ku siteegi ya bishop.

Yalina n’ekifo ku mulyango oguyingira Satelite bbiici we yatundiranga bisikwiti, swiiti n’ebyokulya ebirala.

Ensala y’omulamuzi

Bwe yabadde awa ensala ye, omulamuzi Margaret Mutonyi yasabye poliisi okulaba ng’omuwawaabirwa owookubiri Isaac Buyinza akwatibwa aleetebwe mu kkooti avunaanibwe.

Yasiimye owa poliisi D/Sgt. Ronald mwaya eyakola obulungi mu kunoonyereza ku musango guno n’asaba abakulira poliisi bamukuze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga