TOP

Bayodde abateegera ku mwala gw’e Nakivubo

By Eria Luyimbazi

Added 5th August 2017

KINO ekikwekweto abaserikale ba poliisi banaalwawo okukyerabira. Abamu baagenze okuvaayo nga banyiga biwundu ebyabatuusiddwaako ababbira ku mwala e Nakivubo.

Kasule1 703x422

OC Kasule ng’akunya abaakwatiddwa ku mwala.

Bya Eria Luyimbazi

KINO ekikwekweto abaserikale ba poliisi banaalwawo okukyerabira. Abamu baagenze okuvaayo nga banyiga biwundu ebyabatuusiddwaako ababbira ku mwala e Nakivubo.

Ku Lwokuna ku makya poliisi yeezoobye n’abavubuka abateegera ku mwala gw’e Nakivubo mu kikwekweto ekyakoleddwa okufuuza abamenyi b’amateeka abagumba mu kifo kino ne batigomya abantu abakeera okugenda okusuubula n’okulinnya bbaasi.

Akulira poliisi ye Nakivubo C/ASP Consulata Kasule yagambye nti, “Waliwo abavubuka abaasalawo okuteega abantu mu budde obw’oku makya ne bababba naffe kwe kusalawo okukola ekikwekweto.”

Baakutte abavubuka 12 nga bonna baasangiddwa mu mwala gw’e Nakivubo ne balemwa okunnyonnyola kye bakolawo ku ssaawa 11:00 ez’oku makya.

 muserikale ugondi ngalaga ekiwundu kye yafunye ngagobagana nabamenyi bamateeka Omuserikale Mugondi ng’alaga ekiwundu kye yafunye ng’agobagana n’abamenyi b’amateeka.

 

Wabula mu kikwekweto kino abamu ku baserikale baafuniddeyo ebisago oluvannyuma lw’abavubuka abamu okukubagana nabo. Omu ku baalumiziddwa ye Mugondi ng’ono yafunye ebisago ku lubuto ne ku nkokola.

Abaakwatiddwa kuliko John Okello, Ashiraf Kayongo, Collins Muwanguzi, Dan Oyeni, Pius Ssedujja, Emma Tunomujuni, Godfrey Masengere, Brian Musinguzi, Isa Imbayo, Ivan Kafeero, Onan Tuyanebe ne John Tumuheli.

Kasule yagambye nti bagenda kwongera okubasunsulamu era n’asuubiza okugenda mu maaso n’ebikwekweto bino okusobola okumalawo obumenyi bw’amateeka mu kitundu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka