TOP

Bbanka enkulu yasuula eyange - Sudhir

By Musasi wa Bukedde

Added 5th August 2017

Wakati wa 2015 -2016, Crane Bank yalina okusala amagezi okuvvuunuka amabanja agaali galemeredde bannannyinigo okwali abasuubuzi abaatundanga ebintu e South Sudan kyokka ssente zonna ne zifa, abaali mu byamafuta mu Uganda n’amatabi amalala abaali balaajanira gavumenti ebayambe.

Tourist1 703x422

Ekimu ku bizimbe bya Sudhir (ku ddyo) ekisangibwa e Nakasero mu Kampala.

Bya MUSASI WAFFE

SUDHIR Ruparelia yagambye nti okugwa kwa Crane Bank kwava ku banene naddala mu bbanka enkulu abaalemwa okukola omulimu gwabwe, gattako embeera y’ebyenfuna embi eyalemesa abasuubuzi be yawola ssente ennyingi ne batazisasula.

Emisango egyamuwawaabiddwa okubba ssente mu bbanka ye nagyo ayongedde okugikalubya bw’ategeezezza nti birimu ffitina kubanga bannamateeka bbanka enkulu be yapangisizza bamulinako akakuku kubanga baaliko  balooya be n’abagoba.

Bbanka enkulu eyungudde bannamateeka ba MMAKS Advocates abakulembeddwa Apollo Makubuya (ono ye mumyuka Owookubiri owa Katikkiro wa Buganda) n’aba AF Mpanga abakulembeddwa David Mpanga (Attorney General w’e Mmengo).

Mpanga yayatiikirira nnyo nga looya wa Dr. Kiiza Besigye amuwolerezza okuva lwe yasooka okwesimbawo ku Bwapulezidenti.

Sudhir aleese Balooya 30 aba Kampala Associated Advocates okumuwolereza abakulembeddwa Elison Karuhanga ne Bruce Musinguzi era baamaze dda okuwaayo okwewozaako kwe.

Sudhir yeesibye ku Gavana wa bbanka enkulu, Tumusiime Mutebile nti wadde yamuwawaabidde kyokka byonna ebyali mu bbanka ye (Crane Bank) abimanyi era amuleese ng’omujulizi we omukulu mu musango guno.

Sudhir aleese abajulizi 21 okuli omumyuka wa Gavana Dr. Louis Kasekende, Justine Bagyenda alondoola ebya bbanka, Godfrey Yiga Masajja, Susan Wasagaki Kanyemibwa.

Bannamateeka ba Bbanka enkulu okuli David Mpanga, Timothy Masembe Kanyerezi owa MMAKS nabo abawaddeyo ng’abajulizi.

Bano yasoose kukibateekako nti bamulinako akakuku kubanga baaliko balooya be.

 

BBANKA ENKULU BY’EVUNAANA SUDHIR

Bbanka enkulu evunaana Sudhir ne kkampuniye eya Meera Investments, okuggya ssente mu Crane Bank ng’ateekayo akawunti ez’empewo n’okukozesa amagezi ga tekinologiya, okufera ssente za bbanka ng’aziyisa mu kkampuni ze ng’omuntu ne yeesasula.

Bbanka enkulu eyagala Sudhir asasule ssente obuwumbi 397 ze yaggya mu bbanka obutereevu ne mu makubo amalala.

Sudhir mu kwewozaako yeegaana byonna okuli okubba ssente mu bbanka ye ng’agamba nti baakikola kumwonoonera linnya.

Yasabye kkooti eragire bbanka enkulu emuddize ebyapa by’ettaka bye yawamba era bamuliyirire.

Okumuvunaana nti teyatereka ssente z’abakozi be 700, mu kitongole kya NSSF yagambye nti ye ng’omutu yali tavunaanyizibwa ku nkalala okusasulirwa abakozi obwo bwali buvunaanyizibwa bw’abaali baddukanya Crane Bank, bbanka enkulu be yakakasa nga baweebwa emirimu.

Ayongera okunnyonnyola nti nga April 21, 2015 bbanka enkulu yakakasa ebitabo bya Crane Bank eby’omwaka 2014 ogwaggwako nga December 31, 2014 n’etalaga nti waaliwo okwemulugunya kwonna nga bwe yalaze mu mpaaba yaayo nga yeesigama ku lipooti y’ababalirizi b’ebitabo aba Price Water House Cooper eyakolebwa November 13, 2014.

Mu October 2016 bbanka enkulu yeddiza Crane Banka ate January 27 n’egikwasa DFCU Bank egiddukanye, ebyobugagga byayo ebibalirirwamu obuwumbi 1,800 n’amabanja gaayo gonna n’amatabi 46 ge yalina okwetooloola eggwanga. Sudhir agamba nti okuva kino lwe kyaliwo tafunanga mbalirira yonna ku bigenda mu maaso.

 

 

OLUKWE OKUMUSUULA

Ayongerako nti, okugwa kwa Crane Bank, kuli mu mikono gya bbanka enkulu yennyini eyagyeddiza kubanga wakati wa 2015 -2016, Crane Bank yalina okusala amagezi okuvvuunuka amabanja agaali galemeredde bannannyinigo okwali abasuubuzi abaatundanga ebintu e South Sudan kyokka ssente zonna ne zifa, abaali mu byamafuta mu Uganda n’amatabi amalala abaali balaajanira gavumenti ebayambe.

Okukakasa ekyo, nga June 13, 2016 Katikkiriro wa Uganda yawandiikira Pulezidenti ng’alaga amagezi gavumenti geesaze okununula Bannayuganda abatubidde mu mabanja n’ebbaluwa eyo n’agiwaako ekibiina ekigatta bbanka ekya Uganda Bankers Association.

Olw’embeera eyo bannannyini migabo baayongera ssente mu Crane Bank obuwumbi 30, kyokka ate mu July 2016 bbanka enkulu yayimiriza Crane Bank okukola emirimu egimu mwe yalina okuggya ensimbi ng’okugaba looni ekintu ekyavaako okutta ssente za bakasitooma baabwe nga tebasobola kuzikozesa kukola magoba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Blackcouplefightrelationshipsadangryunhappye1471357042435690450crop80 220x290

‘Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba’...

ABAKAZI emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.

Napolivsliverpool1 220x290

Liverpool ne Napoli zeewulira amaanyi...

Ancelotti, atendeka Napoli agamba nti Liverpool temutiisa.

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....