TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusirikale eyakubwa amasasi mu kikwekweto alaajanye

Omusirikale eyakubwa amasasi mu kikwekweto alaajanye

By Vivien Nakitende

Added 5th August 2017

Charles Kasumba 35, omutuuze mu zooni ya Kironde mu Ndeeba ali mu bulumi obutagambika oluvannyuma lw’omuserikale okumukuba ssasi bwebaali beenyoola n’ababbi ba sipeeya.

Edson1 703x422

Kasumba ng'alaga obuvune bweyafuna

 

Bya VIVIEN NAKITENDE

Charles Kasumba 35,  omutuuze mu zooni ya Kironde mu Ndeeba ali mu bulumi obutagambika oluvannyuma lw’omuserikale okumukuba ssasi bwebaali beenyoola n’ababbi ba sipeeya.  

Agamba yali akola ne poliisi ya Kironde mu Ndeeba, naye nga 30/05/17 eyali akulira poliisi eno Ssembajjwe yamuyita okugenda okukwata ababbi abaali batikkula ebintu ku mmotoka, ku kifo ekiyitibwa Kayipini mu Ndeeba.  

Nti kyokka bwe batuukayo baasanga abavubuka abaali batikkula emmaali nga bangi ne babalemerera, kwe kuddukira ku poliisi ya Ndeeba okufunayo abaserikale abalala okubayambako, mu bano mwalimu;  Bwire, Edson ne Kalisimati. 

Babalwanyisa  ne bakwatako babiri, kyokka mu kubafulumya ate abaali baasigadde  munda ne basitula buto olutalo, nga mukavuvungano kano, omuserikale Edson weyakubira essasi okugumbulula abavubuka abaali bataamye obugo,  ebyembi nerikwasa Kasumba mu kugulu. 

Kasumba agamba banne bwe baalaba nti afunye obuzibu baamutwala  ne bamusuula mu ddwaaliro e Mulago ne batamulabirira, eno abazirakisa gye bamuggya nebamutwala mu ddwaaliro e Kiruddu okugulu ne bakulongoosa emirundi ebiri nga bwe basala ennyama ku kabina okubikka okugulu kwe baasala okugatta emisuwa egyali gikutuse.

 Agamba atuuse ku poliisi ez’enjawulo okuli; Katwe, Ndeeba, Kabowa naye tayambibwa kyokka eyamukuba essasi, yakyusibwa natwalibwa ku poliisi endala. 

Asaba Omuduumizi wa Poliisi Kaihura  ayingire mu nsonga ze bamujjanjabe awone bulungi,  asobole okuddamu okwekolera kubanga kati takyalina kyalya  n’ebintu mu nnyumba ye abitunze biweddewo. 

Atwala poliisi ya Ndeeba Mugira Kato, agambye nti,   ensobi yagwawo Kasumba naafuna obuzibu buno nga bali ku mulimu, naye banne bafubye nnyo okumuyamba era obujjanjabi bwonna beebabadde  babutoola. 

Nti naye obuzibu bwa Kasumba,  ate banne ayagadde kubafuula lusuku, anywa ku mwenge buli lwayagadde okunywa omwenge naasaba ssente nebatamuwa ng’ayogera bingi, ng’agenda ku poliisi ez’enjawulo okutwalayo okwemulugunya kwe, agamba ensonga zino ne DPC w’e Katwe Frantile Lwamusaayi azimanyi era naye yamuyamba. 

“Kasumba tumuyambye era tukyamuyamba, lwakuba ate ayagala kukungula kingi mu buzibu buno, naye ng’ayambibwa”.



More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbarakuzi 220x290

'Abeenyigira mu ttemu mwekube mu...

Yagambye nti abeenyigira mu kutta abalala bakimanye nti Katonda ajja kubasasula nga bwe yakola ku Kaine eyatta...

Nana 220x290

Xhaka yeenyiyiddwa Arsenal: Agenda...

GRANIT Xhaka, eyaggyiddwaako obwakapiteeni bwa Arsenal olw’okuwemula abawagizi ayolekedde AC Milan eya Yitale....

Kinnyaweb 220x290

Ekinnya ku ppaaka ya USAFI kitabudde...

Ekinnya kigambibwa nti kyavudde ku bigoma ebitambuza amazzi ebyassibwa mu kifo kino okubomoka. Okuva ekinnya kino...

Mbonyeweb 220x290

Poliisi ekunyizza omusumba Mbonye...

Mbonye yeeyanjudde ku kitebe kya bambega e Kibuli Ku Mmande nga yasooka kuyitibwa nga October 21, n’atagendayo...

Toko 220x290

Bassita ba Bungereza banenyezza...

EKIKOLWA ky’omutendesi wa Bungereza, Gareth Southgate okuggya Raheem Sterling mu ttiimu egenda okuttunka ne Montenegro...