TOP

Omukozi w'aba China afiiridde mu buliri

By Musasi wa Bukedde

Added 5th August 2017

ENTIISA ebutikidde abakozi wamu n’abakulira kkampuni ekola ebizimbisimbwa saako n’emifaliiso eya Tian Tang esangibwa ku kyalo Mbalala ekisangibwa mu ggombolola ye Nama mu district ye Mukono bwe basaze akulira abakozi ng’affiridde mu buliri.

Tiang1 703x422

Alex Mwembebezi nga bwabadde afaanana

Bya ERIC YIGA

ENTIISA ebutikidde abakozi wamu n’abakulira  kkampuni ekola
ebizimbisimbwa saako n’emifaliiso eya Tian Tang esangibwa ku kyalo
Mbalala ekisangibwa mu ggombolola ye Nama mu district ye Mukono bwe basaze akulira abakozi  ng’affiridde mu buliri.

Alex Mwembebezi 35  yasangiddwa nga ffiridde munyumba y’omulimu mwabadde asuula era ng’enyumba enno ebadde mu kampuni eno munda ku mulimu gwabadde yakamako ebbaga lya mwezi essatu gyokka ng’ono abadde yadda  mu bigere by’omukyala ategerekeseko nga Vivian.

Ono okuzulibwa kiddiridde abamu ku bakozi banne okumala olunaku nga tebamulabako kyokka ng’emmotoka ye bangiraba mu parking ekyabawaliriza okugenda ku nyumba ye okumunonya era nga wanno we bamusagidde nga muffu wagyo.

Omugenzi asangiddwa mu buliri  ng’omulambo gwe guli bwerere nga yenna yenyaze ekintu ekireesewo ebibuuzo ebingi mu bamu ku bakozi.

Abamu ku bakolera mu kkampuni abatagadde kwatukiriza mannya ng’abwe bategezezza nti omugenzi yadiba nga yawereddwa obutwa.

“Nze obuzibu bwemannyi ku kampuni eno obuteyagaliza bungi nnyo, nga buli muntu abeera ayagala ekifo  ekibeera kilimu mune, kuba omusajja ono tabadde mulwadde yadde n’akamu kyokka kitwewunyisiza okutugamba nti yafudde.” Omu ku bakolera mu kampuni eno bwategezezza.

Okusinzira ku bakozi banne bagenze mu maaso nebategezza nga bwebakoma okulaba ku mugenzi ku lw’okunna  era okuddamu okumulaba basanze mulambo ku lw’okutaano ku ssawa nga kkumi n’abbiri ez’akawuugeezi.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...