TOP

Basattira lwa kubookera katale

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2017

Baasabye poliisi ebongere obukuumi nga bagamba nti tebaagala kudda mu maziga ge baakulukusa, ow’ettima bwe yateekera akatale kaabwe omuliro emmaali yonna n’esaanawo.

Bookyua1 703x422

Ssentebe w’abasuubuzi, Nnyombi ng’ayogerako gye bali mu lukiiko

Bya MOSES LEMISA

ABASUUBUZI b’omu katale ka Kizito bali ku bunkenke olw’ekibinja ky’abantu okuteekera akatale kaabwe omuliro. Ku Lwokuna, ekibinja ky’abantu abatannategeerekeka baayokezza saaluuni eri mu katale kano nga bagenderera okusaanyaawo.

Ekirungi, abasuubuzi omuliro guno baagulabye mangu ne baguzikiza.

Baasabye poliisi ebongere obukuumi nga bagamba nti tebaagala kudda mu maziga ge baakulukusa, ow’ettima bwe yateekera akatale kaabwe omuliro emmaali yonna n’esaanawo.

Poliisi n’abakulira akatale baakubye olukuhhaana mu katale kano okusalira Basattira lwa kubookera katale ekizibu kino amagezi.

OBUZIBU WE BUVA

Akatale kano ka Deborah Namutebi nnyina w’omugenzi Majid Musisi eyali omusambi w’omupiira nnakinku.

Kali ku yiika emu n’omusobyo nga kasangibwa mu minisipaali y’e Kawempe Waliwo ekibinja ky’abasuubuzi 30 abaludde nga basika omuguwa ne Namutebi nga bamuwakanya nti akatale si kake era ku muliro ogwasooka okukasaanyaawo buli ludda lwalumirizza lunnaalwo okukookya.

Namutebi agamba nti ekibinja kino kirina ebigendererwa byakyo kuba bamaze emyaka nga bagaanyi okusasula empooza nga beekwasa nti bo ebifo we bakolera baabigula ku mugenzi Kizito. Bano Namutebi bwe yabasaba ebiwandiiko kwe baabaguliza, ate baddukira mu ofiisi z’abakulembeze ab’enjawulo.

Ssentebe w’abasuubuzi mu katale kano, Francis Nnyombi yagambye nti, waliwo abantu abalina emitima egitaagaliza abaagala okuddamu okwokya akatale.

Yasabye abasuubuzi buli omu okuba mbega wa munne kuba akatale bwe kasaanawo, bonna bajja kufiirwa.

Amyuka akulira poliisi y’oku Kaleerwe, ASP Daniel Kyeyune yagambye nti poliisi enoonyereza ku baabadde bookya akatale.

Yagumizza abasuubuzi nti poliisi egenda kwongera obukuumi mu katale kyokka n’abasaba okufuna kaadi ezibalaga nti bakolera mu katale kano kyanguyize abakuumi omulimu gwayo.

Ssinga omuliro guno gwakutte akatale kano, guno gwandibadde mulundi gwakusatu nga kookebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’