TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sudhir ayagala bbanka ya Uganda enkulu emuliyirire

Sudhir ayagala bbanka ya Uganda enkulu emuliyirire

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2017

NAGGAGGA Sudhir Ruparelia naye atutte bbanka ya Uganda enkulu mu kkooti n’agivunaana okumenya endagaano gye bakkaanyaako ku by’okuggala Crane bank.

Crane1 703x422

Crane bank nga bweyali

Bya Musasi Waffe

NAGGAGGA Sudhir Ruparelia naye atutte bbanka ya Uganda enkulu mu kkooti n’agivunaana okumenya endagaano gye bakkaanyaako ku by’okuggala Crane bank.

Mu ndagaano eno, kyakkiriziganyizibwako abantu abaalina emigabo mu Crane bank obutalaalaasibwa wadde okuggulwako emisango mu kkooti nti kyokka bino byonna bbanka enkulu eya Uganda ebikoze n'emenya endagaano ekiwalirizza Sudhir okuwaaba.

Mu mpaaba ye, Sudhir agamba nti era bbanka enkulu yagaana okumuwa fayiro ezirimu emisingo abantu kwe beewolera ssente mu Crane bank, naddala ng’amaze okusasula gavumenti obukadde bwa doola 8 nga bwe yalagirwa.

Noolwekyo, Sudhir ayagala aliyirirwe olw’okumufiiriza, na byonna by'asaasaanyizza, olwa bbanka enkulu okumenya endagaano eno.

Ayagala kkooti eragire bbanka zombi eya Crane ne Bbanka Enkulu zimuddize ebyapa bye eky’e Nakawa mu kitundu ky’amakolero, n’ekirala okuli ekizimbe kye ekisangibwa ku Parliament Avenue era addizibwe n’ensimbi obukadde 8 eza doola ze yaggyibwako.

Sudhir annyonnyola nti ng’ennaku z’omwezi October 20, 2016, bbanka enkulu yeddiza Crane bank oluvannyuma n’egiguza bbanka ya DFCU ku muwendo gwe yakuuma nga gwa kyama, kyokka mu January w’omwaka guno, yatuukirirwa ne batandika okuteesa ne Bbanka Enkulu okulaba engeri gye banaakwatamu ensonga zino batuuke ku kukkaanya kyokka baamwekyusiza ne bakola birala.

Yakiggumizza nti mu ndagaano gye baakola wakati we n’aba Bbanka Enkulu, kyakkaanyizibwako nti buli ludda lwanguye okussa mu nkola ebikkaanyiziddwako, era lusasule biri kibanjibwa mu bwangu kyokka nga n’ekisinga obukulu, obutabaawo muntu atwalibwa mu kkooti ku nsonga za Crane Bank wano mu Uganda oba okumuggulako omusango gwonna ebweru wa Uganda.

Sudhir agamba nti bino byonna byamenyebwa dda ng’ekigenda mu maaso kati yakubwa dda mu mbuga z’amateeka ekiraga obutali bwesimbu ku ndagaano gye baakola ne Bbanka Enkulu eya Uganda nga naye kye yavudde asalawo agende mu kkooti yeekubire enduulu.

 udhir ne utebile Sudhir ne Mutebile

 

Ebyali mu ndaagano gye baakola

Mu ndagaano eno era kyali kikkiriziganyiziddwaako nti nga Sudhir amaze okutuukiriza ebyamusabibwa byonna, gamba ng’okusasula ensimbi endala eziwera obukadde 6 obwa doola, eby’obugagga bwe byonna ebyali biboyeddwa byali byakumuddizibwa mu bwangu.

Era kyakkaanyizibwako nti amabanja agaweza 63,612,647,000 nga gamaze okusasulwa, Crane Bank yali yaakukomezebwawo eddizibwe nnyini yo Sudhir addemu okugiddukanya buli kimu kitambule bulungi nti kyokka kino tekyakolebwa.

Sudhir annyonnyola nti ng’ennaku z’omwezi April 4, 2017, munnamateeka David FK Mpanga yabaga ekiwandiiko ekiraga engeri endagaano eno gye yali ey’okussibwa mu nkola nga kiraga buli kintu ekyakkiriziganyizibwako mu kiseera mwe kinaakolebwa.

Yawadde ekyokulabirako nti ekyali kisookerwako ku ludda lwe, kwe kuwaayo olukalala lw’eby’obugagga obuweza obukadde bwa doola za Amerika 42,000,000 ate yo Bbanka Enkulu emuwe kalonda yenna akwata ku mabanja agaasangibwa mu Crane Bank, ng’olwa April 11, 2017 terunnayita.

Kyakkaanyizibwako nti amangu ddala nga Sudhir yaakamala okuwaayo 8,000,000 eza doola, baali baakumuddiza eby’obugagga ebigya mu ssente zino ebyali biboyeddwa, era oluvannyuma lwa Sudhir okwongera ensimbi endala 10,000,000 eza doola, bbanka ya Uganda yalina okumwongera ebyapa ebirala ebigya mu ssente zino kyokka bino byonna tebyakolebwa.

Oluvannyuma lwa bino byonna, enjuyi zombi zaali zaakussaawo ttiimu y’ababalirizi babalirire eby’obugagga bya Sudhir bafune omuwendo omutuufu balabe nga buli bbanja lisasulwa buli kimu kiggwe.

'BAAMENYA ENDAGAANO GYE TWAKOLA'

Sudhir agamba nti mu ngeri erabika nga yaakulumya, n’okumenya endagaano eno mu bugenderevu, Bbanka Enkulu yagaana okutuukiriza ebintu byonna bye yeeyama n’awa ekyokulabirako nti alina olukalala lw'eby’obugagga lwe yawaayo nti kyokka ku lukalala luno, ebyapa 10 byali mu mannya ga Mahmoud Bharwani eyali akkirizza okusasula amabanja ge ge yeewola mu Crane Bank kyokka bino byonna Bbanka Enkulu yabigaanira mu ngeri eraga omutima omubi.

Sudhir agamba okusinziira ku nsonga zino, talina ky'ayinza kukola kirala okuggyako naye okugenda mu kkooti etunule mu nsonga ze ebatawulure kuba alowooza nti buli kye baamulagira okukola yakikola naye aba Bbanka Enkulu baasalawo kukola byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke