TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bakaleke ayimirizza abapoliisi 25 abeebakira ku mirimu ekiro

Bakaleke ayimirizza abapoliisi 25 abeebakira ku mirimu ekiro

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2017

ABASERIKALE ba poliisi 25 bayimiriziddwa ku mirimu nga bwe banoonyerezebwako oluvannyuma lw’okukwatibwa nga balagajjalidde emirimu gyabwe ekiro, beebase.

Pf 703x422

Ono emmundu yagibikkidde mu kikooti. Ali ku ddyo yabadde emmundu agyesibye mu kiwato.

Baakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa RPC wa Kampala, Siraje Bakaleke ku Lwomukaaga.

Mu bakwate kuliko n’abakulira poliisi (OC) munaana abaasangiddwa nga tebali kumirimu.

Wadde bonna baateereddwa ku kakalu ka poliisi, baalagiddwa obutaddamu kukola okutuusa ng’okubanoonyerezaako kuwedde.

Bakaleke yategeezezza nti tagenda kukoma kukola bikwekweto ku baserikale kubanga bangi mu kifo ky’okukola badda mu kusumagiirira ku mirimu ne kiwa abakozi b’ebikolobero ekyanya.

Ekikwekweto yakitandikidde Ntebe oluvannyuma n’agenda ng’atuuka ku poliisi ez’enjawuulo mu Kampala.

Abamu ku baakwatiddwa kuliko Milton Opio okuva ku Wilson Road, Joseph Monday owa Bus Park, Chebet wa Nakivubo, Namboozo ku Nile Coach, Nyero - Nile Coach ne Muhoozi Apollo naye owa Nile Coach. Ku luguudo lw’e Ntebe mu bitundu nga Kibuye, yagenze abuuza ne ku ba bodaboda okumanya enkolagana yaabwe ne poliisi.

Oluvannyuma yatuuseeko ne mu bifo ebisanyukirwamu n’abagumya nti bajja kubawa obukuumi mu mbeera zonna.

Yasabye abantu abatambula ekiro ennyo bwe kiba kisoboka okwewala okutambula obw’omu nga tebalina biboogerako.

 

Wano we yasabidde abayamba ku poliisi (Crime Preventers) okubeera obulindaala n’okutumbula enkola ya ‘Mayumba 10.’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka