TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana atemyetemye kitaawe kujula kumutta lwa ttaka

Omwana atemyetemye kitaawe kujula kumutta lwa ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2017

OMWANA atemyetemye kitaawe ng’amulanga okumugaana okutunda ettaka ly’ekiggya.

Tema1 703x422

a ng’ajjanjabwa mu ddwaaliro e Mulago.

Henry Lukenge ow’e Kikindu mu ggombolola y’e Ssingo mu disitulikiti y’e Mityana ye yatemye kitaawe, Lawrance Walugondo 60, ow’omu kitundu kye kimu.

Kigambibwa nti, Walugondo aludde ng’agugulana ne Lukenge ku nsonga z’ettaka lino kyokka bulijjo ensonga bazimalira mu kakiiko ka LC I.

Ku Lwokutaano, Lukenge yalumbye kitaawe ng’abagalidde ejjambiya mu kirombe gy’akubira amatoffaali.

Lukenge yasabye kitaawe olukoba n’alumumma, kwe kumutemaatema ku mutwe, amagulu n’emikono.

Abatuuze baamutaayizza kyokka nabo n’abaleegamu ejjambiya.

Baakubidde poliisi y’e Mityana n’amukwata.

Baamuddusizza mu ddwaaliro e Mityana kyokka oluvannyuma baamwongeddeyo e Mulago gye bamujjanjabira kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mab2 220x290

Male Mabirizi atutte Gavumenti...

Male Mabirizi atutte Gavumenti mu kkooti

Hb1 220x290

Abalabirizi baagala kusisinkana...

Abalabirizi baagala kusisinkana Kabaka

Kib2 220x290

Aketalo nga URA etunda mmotoka...

Aketalo nga URA etunda mmotoka ne pikipiki ku nnyonda.

Lab2 220x290

Bumate United FC etanziddwa emitwalo...

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye