TOP

Cranimer Kalinda aziikibwa lwa kusatu

By Vivien Nakitende

Added 7th August 2017

CRANIMER Kalinda 83, omuwandiisi w’ebitabo nnakinku era munnabyabufuzi omukukuutivu yafudde mu kiro ekyakeesezza Ssande.

Kalinda7 703x422

Omugenzi Cranimer Kalinda

Bya VIVIEN NAKITENDE

CRANIMER Kalinda 83, omuwandiisi w’ebitabo nnakinku era munnabyabufuzi omukukuutivu yafudde mu kiro ekyakeesezza Ssande.

 Kalinda yafiiridde mu ddwaaliro e Nakasero. 

Okusinziira ku muwalaawe Dr. Fiona Kalinda agamba; Taata amaze ebbanga lya myaka etaano ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’omutima,  era tubadde tumujjanjabira mu malwaliro ag’enjawulo okuli; Kadic ne Nakasero. 

 alinda nabamu ku baana be Kalinda nabamu ku baana be

 

Okuva maama omugenzi Nightangle Kitoogo Kalinda bweyafa mu 2013, embeera yaayongera okumukaluubirira olw’ekiwubaalo,  era mbadde ntera okumutwala ewange e Kira  n’embeerako naye,  naddala ng’afunyemu obukosefu.

 utabani wa alinda omukulu Mutabani wa Kalinda omukulu

 

Nga tannafa,  abadde yalumbibwa endwadde ya Alusa ebadde emumazeeko  emyezi ebiri,  n’obulwdade bwa puleesa obwamukutte ku ssaawa esembayo,  era naamuddusizza mu ddwaaliro e Nakasero ku makya g’olw’omukaaga ng’embeera etabuse, bw’abadde bukya ku ssaawa mwenda ez’ekiro  ekyakeesezza ssande, Taata nassa omukka gwe ogw’enkomerero.

 alinda ne mutabani we Kalinda n'omu ku batabani we

 Leero ku  mmande  ssaawa mukaaga ez’emisana,  omulambo gwa  Kalinda gutuusiddwa mu makaage mu zooni ya Sserwadde e Kabowa okuva mu ddwaaliro e Nakasero,  wakati mu maziga n’okwazirana okuva mu bamulekwa n’abeng’anda ze.

 Wategekeddwawo okusabira omwoyo gw'omugenzi mu makaage leero ssaawa 11, enkya ku Lwokubiri asabirwe mu kkanisa ya St. Stephen’s C.O.U E Kabowa, aziikibwe ku lw'okusatu ku bijja bya ba Jjajjaabe e Mulule Ssemuto mu disitulikiti y'e Luwero. 

 maka ga alinda agasangibwa e abowa Amaka ga Kalinda agasangibwa e Kabowa

 Kalinda yawandiika ebitabo eby’enjawulo okuli; Kirimuttu, Bazibumbira, Risinga against all Odds, yakyusa Animal Farm mu  Luganda (Amaka ga ba Wansolo), n'ebiralala. 

Wafiiridde ng'alese ekitabo kye ekipya ky'abadde agenda okujjula ku nkomerero y'omwezi guno ekiyitibwa "Emmambya Akawungeezi".

 

 bamu ku baana ba alinda Abamu ku baana ba Kalinda

 

Yasomesaako ku Mengo P/S ne Kings College Budo, yakolako mu kitongole ekitegeka eby’ensoma ekya National  Curriculum Developement Center, yaliko kansala ku lukiiko lwa KCC e Makindye mu gye 90, yaliko ssentebe wa munisipaali y'e Makindye, yaliko RDC wa Kampala, wafiiridde nga muwabuzi wa pulezidenti mu kitundu kya Lubaga South.

 bakungubazi nga bakuba eriiso evvannyuma ku mulambo gwa alinda Abakungubazi nga bakuba eriiso evvannyuma ku mulambo gwa Kalinda
 alinda ne mukyalawe ightangel bombi kati abagenzi bwe baali bakyali balamu Kalinda ne mukyalawe Nightangel bombi kati abagenzi bwe baali bakyali balamu

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.