TOP

Kalinda: Baakaleeta abaana 28

By Vivien Nakitende

Added 9th August 2017

Mwannyina wa Kalinda, Beatrice Nampiima yategeezezza nti ekituufu mwannyina alese abaana bangi era tamanyidde ddala muwendo mutuufu kubanga mulimu n’abalongo kyokka n’alaga essuubi nti bajja kubakuza mpola.

Cranmer1 703x422

Omugenzi Kalinda

Bya VIVIEN NAKITENDE

OMUGENZI Cranmer Kalinda yeegasse ku basajja emmekete ng’omugenzi Polof. Lawrence Mukiibi ne Mulindwa Muwonge, abakazi bwe batandise okusomba abaana nga we bwazibidde eggulo, abaana 25 be baabadde baakaleetebwa bamaama ab’enjawulo.

Omu ku bawala ba Kalinda abakulu, Dr. Fiona Kalinda, yakubirizza bamaama bonna gye bali okuleeta abaana babakumeekume babeere bumu nga abooluganda.

Ku baana bano kuliko abasajja abakulu n’abakazi abakulu ate n’abato ddala abali wansi w’emya etaano.

 bamu ku bamulekwa bomugenzi alinda ku kkono mu kumusabira eggulo Abamu ku bamulekwa b’omugenzi Kalinda (ku kkono) mu kumusabira eggulo.

 

Mu bamu ku baana abaaleteddwa kwe kuli; Daudi Katudde, ng’ono ye mulenzi omukulu mu luggya, F. Kalinda, S. Kalinda, E. Muwanga, D. Mugambe, R. Muwanga ne J. Kalinda.

Abalala kuliko JM Kalinda, J. Mbolanyi, S. P. Nakandi, D. Nalubowa, nga bano be baasobose okutegeerekeko amannya. Abaana bano bali ne bannyaabwe mu bitundu eby’enjawulo.

Omu ku bannamwandu ayitibwa Betty Muhaye yalaze obweraliikirivu ku ngeri gy’agenda okulabiriramu abaana be ababiri bba be yamulekedde.

 namwandu uhaye ne bamulekwa anet useveni akalinda ali mu 5 ku kkono ne aphine alubowa owa 2 Nnamwandu Muhaye ne bamulekwa; Janet Museveni Nakalinda ali mu P5 (ku kkono) ne Daphine Nalubowa owa S2.

 

Muhaye agamba nti baasisinkana n’omugenzi Kalinda mu zimu ku kampeyini za Pulezidenti Museveni ne basiimagana era ekyaddirira kuzaala baana bano n’asaba pulezidenti Museveni abadduukirire bakuze abaana bano.

Mwannyina wa Kalinda, Beatrice Nampiima yategeezezza nti ekituufu mwannyina alese abaana bangi era tamanyidde ddala muwendo mutuufu kubanga mulimu n’abalongo kyokka n’alaga essuubi nti bajja kubakuza mpola.

MUSEVENI AWEEREZZA OBUBAKA

Mu bubaka Pulezidenti Museveni bwe yaweerezza mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu kkanisa ya St. Stphen e Kabowa, yayogedde ku mugenzi ng’akoledde ennyo NRM.

 inisita eti amya ngaganzika ekimuli ku ssanduuke ya alinda Minisita Beti Kamya ng’aganzika ekimuli ku ssanduuke ya Kalinda.

 

Obubaka buno yabutisse minisita wa Kampala, Beti Kamya n’agamba nti Kalinda amumanyi nnyo kye yava amuwa ebifo eby’enjawulo mu gavumenti ye.

Agambye nti Kalinda ng’oggyeeko okubeera omuwabuzi we, abadde mukwano gwe ng’omuntu, era asaaliddwa nnyo okuviibwako omuntu ow’omugaso bwatyo.

Asaasidde bamulekwa n’abeemikwano n’abakubagiza n’amabugo ga bukadde 10 gayambeko mu nteekateeka z’okuziika.

Okusaba kwetabiddwaamu abakulembeze mu biti eby’enjawulo okwabadde; eyaliko meeya wa Kampala mu myaka gya 1990 Christopher Mukasa Iga, nga ku mulembe gwe ne Kalinda yali kansala akiikirira Makindye mu lukiiko lwa KCC.

Amwogeddeko ng’omusajja omukozi, awaayo omutima gwe n’amaanyi ge gonna okutuukiriza obulungi ekyo ky’aba akutteko ate omwetoowaze.

“Emirimu gya Kalinda gyeyolekedde mu ebyo by’alese akoze, wadde afudde, naye asigaddewo nga mulamu olw’emirimu emirungi gy’akoledde eggwanga,” Iga bwe yagambye.

 ba  e ubaga nga bateeka bendera yekibiina ku ssanduuke ya ranmer alinda Aba NRM e Lubaga nga bateeka bendera y’ekibiina ku ssanduuke ya Cranmer Kalinda.

 

Mmengo esiimye Kalinda

Meeya wa Lubaga, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo akiiridde Mmengo mu kusabira omugenzi, mu bubaka obuvudde e Mmengo basiimye Kalinda olw’okutumbula Buganda ng’ayita mu kusomesa n’okutumbula olulimi Oluganda ng’akozesa ekitone kye eky’okuwandiika ebitabo.

Baagambye nti, Kalinda atadde ettoffaali ddene, mu kuzimba Obwakabaka n’ekitiibwa kya Buganda ng’ayita mu kutumbula olulimi oluganda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...