TOP

Biibino Bannakenya bye baasinze Uganda mu kalulu

By Ahmed Mukiibi

Added 9th August 2017

KENYA yayolesezza obukugu n’enkulaakulana mu ngeri akalulu ka Pulezidenti n’abakulembeze ab’enjawulo gye kaakubiddwa mu lunaku lumu, ekitali mu mawanga ga Afrika eg’enjawulo omuli ne Uganda.

Uhuru1 703x422

Pulezidenti Kenyatta ng’asuula akalulu. Ku kkono ye mukyala we Margaret Kenyatta eyamuwerekeddeko.

Bya AHMED MUKIIBI  

KENYA yayolesezza obukugu  n’enkulaakulana mu  ngeri akalulu ka Pulezidenti  n’abakulembeze ab’enjawulo  gye kaakubiddwa mu lunaku  lumu, ekitali mu mawanga ga  Afrika eg’enjawulo omuli ne  Uganda.

 Bannakenya tebaakomye  ku kulonda Pulezidenti  wabula baalonze n’ababaka  ba Palamenti 416, Bagavana 47  n’abamyuka baabwe wamu ne  bammemba 1,450 abatuula ku  nkiiko z’amasaza 47 agali mu  Kenya.

 Abeesimbyewo ku bwa  Pulezidenti ku bwa Pulezidenti  babadde 18 kyokka okuvuganya  okw’amaanyi kubadde  wakati wa Raila Odinga ne  Uhuru Kenyatta era we bukeeredde  olwaleero nga bali  ‘lyanda ku lyanda’ ng’enjogera  y’ennaku bw’egamba.  

Akalulu k’e Kenya, katunuuliddwa  nnyo amawanga  ag’enjawulo omuli ne Uganda  okuviira ddala kampeyini lwe  zaatanka nga May 28, 2017.  

 bamu ku bantu abangi abaakedde mu layini okusuula akalulu Abamu ku bantu abangi abaakedde mu layini okusuula akalulu.

 

KENYA BY’ESINGA  UGANDA MU KALULU

  • Kenya esinga Uganda  mu bunene, obungi bw’abantu  n’ebirala kyokka kampeyini  zaabwe bazikoledde ennaku  67 zokka.

Zaatandika May  28, ne zikomekkerezebwa ku  Lwomukaaga oluwedde nga  August 5, 2017. Lye bbanga  lya mwezi ebiri ne wiiki emu  so nga mu Uganda zayindira  emyezi esatu ng’ate Uganda  nsi ntono ku Kenya nga kyenkana  weetaaga Uganda bbiri  okuweza Kenya emu.  

  • Kampeyini mu Kenya  zikomekkerezebwa ng’ebula  essaawa 48 okutuuka ku  lunaku lw’okulonda okuwa  akakiiko k’ebyokulonda  obudde okwetegekera  okulonda ng’ate mu Uganda  kampeyini ziggwa ku lunaku  oluddirira okulonda.

 

  • Ebikozesebwa mu  kulonda byatuuse mu budde  era tewaabaddewo kifo kyonna  Bannakenya gye beegugunze  oba okwemulugunya  olw’ebyokulonda okutuuka  ng’obudde buyise. Okulonda  kwatandise ku ssaawa 12  ez’oku makya ng’abalonzi  abeewandiisa 19,611,423  (abasajja 10,469,148 n’abakazi  9,142,275) beeyiwa mu bifo  ebironderwamu 40, 883 ebiri  mu masaza 47 agakola Kenya.  Mu Uganda ebikozesebwa  bizze bituusibwa kikeerezi mu  bifo ebiroonderwamu ng’ate  Uganda ntono ku Kenya.  

 

 basajja nga basitudde omukadde agenda okukuba akalulu Abasajja nga basitudde omukadde agenda okukuba akalulu.

 

  • Buli kifo awalonderwa  mu Kenya waliwo abakozi  b’akakiiko k’Ebyokulonda  musanvu so nga mu Uganda  buli kifo ekironderwamu  kibeeramu abaakakiiko  k’ebyokulonda bana bokka.  

 

  • Bannakenya eggulo  baalonze abantu ba mirindi  mukaaga ku lunaku lumu  era buli kifo ewalonderwa  kwabaddeko obubbookisi  mukaaga nga bwa langi  ez’enjawulo okusinziira mu  kifo .  

a: Bbookisi ya Pulezidenti  yabadde njeru.  

b: Bbookisi y’omubaka wa  Palamenti (Kiragala).  

c: Bbookisi ya Senator (Kyenvu)  

d: Bbookisi ya gavana (Blue)  

e: Bbookisi y’omubaka omukazi  owa Palamenti (Kakobe).  

f: Bbookisi ya kansala ku  lukiiko lw’essaza ( myufu)  

  • Mu Uganda okulonda kwa  Pulezidenti kubaawo lunaku  lumu n’ababaka ba palamenti,  ate disitulikiti ne zironda  lunaku lulala n’amagombolola  lunaku lulala.  
  • E Kenya gavumenti yaabwe teyajjeeko yintaneeti n'e,ikutu gy'ebyempuliziganya nga Whatsapp, Twitter ne Facebook nga bwekyali e Uganda mu February wa 2016.
 aila dinga ngasuula akalulu eggulo Raila Odinga ng’asuula akalulu eggulo.

 

  • Amagye e Kenya tegalabiddwako mu bifo ebirondebwamu era ne poliisi yabadde nsaamusaamu. E Uganda amagye gavaayo, Mmamba z'amagye, ebimotoka bya ttiya gaasi bismbibwa ku nguudo.
  • E Kenya abooludda oluvuganya baavuddeyo mangu ne bakuba olukungaana lw'abannamawulire okwogera ku byavudde mu kulonda era tebaakwatiddwa. Kino e Uganda tekyalabikako.
  • Abasibe 5,528 be beetabye  mu kulonda kw’eggulo so nga  wano mu Uganda abasibe tebakuba  akalulu.  
  • Bannakenya mu mawanga  ag’ebweru omuli n’abali mu  Uganda baakkirizibwa okukuba  akalulu okufaananako nga ne  bannansi ba Rwanda bwe bakkirizibwa.  Enkola eno ebadde  emanyiddwa mu mawanga  agaakula nga Amerika, Bungereza  n’amalala ag’omu Bulaaya.  Wano mu Uganda kikafuuwe  okukuba akalulu kasita okulonda  kukusanga ebweru w’ensalo za  Uganda.  
  • Muka Pulezidenti Uhuru  (Margaret Uhuru) yakedde ssaawa  12 mu mpewo n’asimba layini  okumala essaawa bbiri okulonda  akalulu mu Nairobi oluvannyuma  n’awerekera ku bba Uhuru e  Gatunda mu ssaza ly’e Kiambu , Uhuru gye yalondedde. Ye Uhuru  teyasimbye layini.  
  • Abalonzi bakira basooka  kussa ekinkumu mu kyuma okukakasa  nti ekyo kye kifo ekituufu  w’alondera n’alyoka asimba  layini.
  •  Tekinologiya eyakozeseddwa  mu kukebera amannya  g’abalonzi Biometric  Voter Registration  System (BVR)  ng’eyakozesebwa mu  kulonda kwa Uganda  okwa 2016 yabadde  yaakika kya waggulu  kubanga obuuma  bwabwe bwabadde bukola  bulungi okusinga obwa  Uganda.  
  • Mu Kenya amateeka  g’ebyokulonda  galagira nti ebirangirirwa  mu kifo ewalonderwa  ng’okulondwa kwa kaggwa  ku ssaawa 11 bye bituufu era ebyenkomeredde so nga wano ebyenkomeredde  bye birangirirwa akakiiko  k’Ebyokulonda e Namboole.  
 mukazi ngawerekerwako abakakiiko kokulonda akube akalulu Omukazi ng’awerekerwako ab’akakiiko k’okulonda akube akalulu.

 

  • Mu Kenya Pulezidenti nga tanneesimbawo  asooka kulonda anabeera  omumyuka wa Pulezienti ne  banoonya bombi akalulu okufaananako  nga Amerika era omumyuka wa  Pulezidenti oyo tagibwako ekisanja  kyonna okuggyako nga yaalekulidde  oba afudde so nga wano mu Uganda  birala nnyo. 
  • Mu Kenya bw’oba tolina diguli  totawaana kwesimbawo ku bwa Pulezidenti  era e Kenya tebalina kkomo  ku myaka gya Pulezidenti Ekkomo  ku myaka gya Pulezidenti. Lyali ku  myaka 70 kyokka ne liggyibwawo mu  2004 ng’ate wano baagala kubitandika.  
  • Mu Kenya obwedda abantu balondera  mu bizimbe kyokka wano tulondera wabweru mu bisaawe .  

Ebyafaayo bya Kenya  

Emyaka  600:  Abawarabu  baatandika  okutuuka ku  lubalama lwa  Indian Ocean.  

Ekyasa kya 16. Abazungu  aba Portuguese baagezaako okwereeta  ku lubalama kyokka ne bagobwa Abawarabu.

 1891: Jommo Kenyatta yazaalibwa.  l 1895 : Kenya yafuulibwa British East  African Protectorate.

 1900: Abangereza beesenza mu Kenya  highlands, n’oluguudo lwa Ttuleyini lwazimbibwa  okuva e Mombasa okutuuka ku Lake  Victoria.  

1911: Jaramogi Ajuma Oginga Odinga  yazaalibwa

 1920: Abazungu bakyusa East African  Protectorate ne bagituuma Kenya  ng’efugibwa Gavana.

1944: Ekibiina kya Kenyan African Union  (KAU) kyatandikibwa okupeeka Abazungu  obwetwaze bwa kenya.  

1945: Raila Odinga yazaalibwa.

 1947: Jomo Kenyatta yalondebwa ku  bwassentebe bwa KAU .

1952: Ekibinja eky’ekyama eky’Abakikuyu  ekiyitibwa Mau Mau baatandika kampeyini  ey’okulwanyisa Abazungu okwamuka Kenya.  

1953: Kenyatta yakwatibwa  n’avunaanibwa okutandika Mau Mau era  yaggalirwa n’ekibiina kya KAU ne kiwerebwa.  Kenyatta yayimbulwa mu 1959

1956: Enkumi n’enkumi z’abantu battibwa  ng’Abazungu balwanyisa aba Mau Mau.  

960: Abazungu bakkiriza okuwa Kenya  obwetwaze era entekaateeka zaatandika okukolebwa.  Ekibiina kya Kenya African National  Union (Kanu) kyatandikibwawo Tom Mboya  ne Jaramogi Oginga Odinga  

Kenyatta yalondebwa okukulira Kanu.

December 1963, Kenya yafuna obwetwaze,  Kenyatta n’afuuka Katikkiro.  

1964: Kenya yafuuka Republic, Kenyatta  n’alondebwa nga Pulezidenti ate Jaramogi  Odinga n’alya obumyuka bwa Pulezidenti.  l 1966: Jaramogi Odinga, yayabulira  KANU n’atandikawo ekibiina kya Kenya  People’s Union (KPU).  

1969: Eyali Minisita Tom Mboya yatemulwa,  obwegugungo ne bubalukawo,  Jaramogi yakwatibwa n’ekibiina kya KPU ne  kiwerabwa, ekibiina kya KANU kyokka ne  kivuganya mu kalulu.

1974 : Kenyatta yalondebwa mu kisanja  ekirala.

1978 : Kenyatta yafiira mu State House  Nairobi, eyali omumyuka wa Pulezidenti  Daniel Arap Moi n’alondebwa okumuddira  mu bigere.  

1982: Amagye gaalinnya eggere mu lukwe  lw’okuwamba gavumenti, Raila Odinga  n’abalala ne bakwatibwa.  

1990: Eyali Minisita w’Ensonga ez’ebweru,  Robert Ouko yatemulwa mu ntiisa .  

1991: Jaramogi Odinga yatandika ekibiina  kya Forum for the Restoration of Democracy  (Ford).  

1992: Ford yeekutulamu ebibiina ebibiri;  Ford-Asili eya Kenneth Matiba ne Ford-Kenya  eya Jaramogi  

1992: Moi yakkiriza ebibiina ebirala  okuvuganya ne yeesimbawo n’awangula  okulonda .  

1994: Jaramogi Odinga yafa.  

1997 : Moi yawangula ekisanja ekyokubiri  mu kalulu akaavuganyizibwako Mwai Kibaki  ne Raila Odinga.

1998: Abatujju ba al Qaeda batta abantu  224 ku kitebe kya Amerika e Nairobi.  

 argaret huru ngasimbye okulonda Margaret Uhuru ng'asimbye okulonda

 

2002: Abatuju baatega bbomu ku wooteeri  y’Abayisirayiri e Mombasa ne batta Bannakenya  10 n’Abayisirayiri basatu.

December 2007 : Kibaki yawangula  ekisanja ekyokubri kyokka Odinga  n’awakanya ebivudde mu kulonda

2007 December: February 2008: Abantu  abasukka mu 1,500 bafiira mu kulwanagana  okwabalukawo nga Odinga agaanyi okukkiriza  ebyava mu kalulu.  

2008: Kibaki yalonda Odinga ku bwa Katikkiro  wa Kenya mu ddiiru ey’okukkaanya.  

2013: Uhuru yawangula okulonda kwa  Pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo