TOP

Abajaasi bamugobye ku mwalo ne yetta

By Musasi wa Bukedde

Added 10th August 2017

OMUVUBI gwe baayokerezza ebintu bye ng’abajaasi babagoba ku mwalo gw’e Mitondo e Bukakatta mu Masaka, yeetugidde mu maka ga mukyala muto, omusawo mu ddwaaliro ly’omu kitundu.

Mwalo1 703x422

Kyeyune eyafudde ne musawo Nabasirye.

Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA

OMUVUBI gwe baayokerezza ebintu bye ng’abajaasi babagoba ku mwalo gw’e Mitondo e Bukakatta mu Masaka, yeetugidde mu maka ga mukyala muto, omusawo mu ddwaaliro ly’omu kitundu.

Fred Kyeyune bwe yabadde tanneetuga yasoose kucakala ne banne mu ndongo n’abagamba nti lwe lwabadde olunaku lwe basembye okumulaba n’abagulira omwenge n’ababuulira obuzibu bw’ayitamu bukya obutimba n’amaato ge bisaanyizibwawo abajaasi abaabagoba ku mwalo.

Bwe yavudde mu ndongo yasibidde mu maka g’omusawo nga yabasanze beebase ne yeetugira mu mulyango wakati.

Mukazi we n’abaana tebaategedde nti yesse. Beekanze ku makya okumusanga ng’alengejjera ku muguwa ne bayita abatuuze.

Kyeyune yeetugidde mu maka ga musawo Annet Nabasirye ng’omwana waabwe wa myaka ebiri gyokka.

Kigambibwa nti Kyeyune ssente bwe zaamuggwaako, Nabasirye n’alekera awo okumufaako nga kino kibadde kimutabula omutwe nga kirowoozebwa nti yakomyewo n’agaana okumuggulira kwe kusalawo okwetugira mu mulyango gw’ennyumba.

 oliisi ngetwala omulambo gwa yeyune Poliisi ng’etwala omulambo gwa Kyeyune.

 

Mukwano gwa Kyeyune, Ivan Mulungi yagambye nti baayawukanye ku ssaawa 9:00 ez’ekiro ng’obwedda y’abaggulira omwenge.

Ssentebe wa LCI, Lukuli Aloysius Ngobya Matovu yagambye nti Kyeyune abadde musirise ng’okuva lwe yawasa musawo Nabasirye abadde ajja n’obutimba bwe n’abwanika era abadde tamanyi nti balina obutakkaanya bwonna.

Musawo Nabasirye abudaabuda abalwadde ku by’akawuka ka siriimu ku ddwaaliro lya Bukulula Health Centre IV, yategeezezza nti bba abadde n’ebbanja lya bbanka nga limusuzza bubi.

Ssente ze yeewola yazigulamu obutimba n’amaato ng’amanyi nti ajja kuzizzaayo kyokka abajaasi bwe baabyokya embeera n’etabuka. “Abadde akyogera lunye nti ebizibu bimuyinze obungi kuba talaba waakuggya ssente nga tavuba.

Kyokka nga mugumya ebbanja tulisasule mpola nga simanyi nti munda alinamu endowooza endala,”Musawo Nabasirye bwe yagambye.

Abantu bagamba nti Kyeyune okwetta yasoose kwetegeka nga yatutte ensawo mu kaabuyonjo nga mulimu engoye n’ekifaananyi kye yeekubisa ne Nabasirye n’assaamu n’akapapula okuli nnamba z’essimu z’abantu be.

Ssentebe w’eggombolola eno, Charles Muyanja ne kansala Charles Sserwanja ne Mathias Kintu baasabye Gavumenti erabe engeri gy’eyambamu abaafiirwa ebintu byabwe kuban abasinga baabaleka mu mabanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...