TOP

Laddu ekubye abayizi 7; Bana bafu

By Paddy Bukenya

Added 11th August 2017

Abatuuze n'abasomesa be Kitagobwa mu ggombolola ye Ngando mu Butambala bali mu kiyongobero oluvanyuma lwa laddu okukuba abayizi musanvu, bana ne bafiirawo basatu ne batwalibwa mu ddwaliro nga bataawa.

Laddu1 703x422

Omuyizi ng'alteereddwako eccupa atwalibwa mu ddwaliro e Gombe

Bya Paddy Bukenya

Abatuuze n'abasomesa be Kitagobwa mu ggombolola ye Ngando mu Butambala bali mu kiyongobero oluvanyuma lwa laddu okukuba abayizi musanvu, bana ne bafiirawo basatu ne batwalibwa mu ddwaliro nga bataawa.

 Abayizi bano laddu ebasanze mu kisaawe nga basamba mupiira gw'empaka z'amasomero ga pulayimale wakati mu bukubakuba obubadde bufuuyirira.

 mu ku bayizi abasimattusse ngaddusibwa mu ddwaliro Omu ku bayizi abasimattusse ng'addusibwa mu ddwaliro

 

 mbyulensi eyatutte abamu ku bayizi abaalumiziddwa Ambyulensi eyatutte abamu ku bayizi abaalumiziddwa

 

Abafudde kuliko Isma Sseruga 12, mutabani wa Abdu Kasozi owe Kasambya, Erias Muhamood omuyizi wa Saidina Abu baker Lwanjiri, Huzairu Ntale ne Abdu Marick Busuulwa nga bonna bayizi ba Kitagobwa Umea.  

Abasimattuse n'ebisago ye Huzairu Yiga owa Kitagobwa Umea, Ashiraf Ssempa ne Yasin Ssemeere nga bonna bongeddwayo mu ddwaliro e Gombe nga embeera mbi nyo.

bantu nga badduukirira omu ku bayizi eyalumiziddwaAbantu nga badduukirira omu ku bayizi eyalumiziddwa
 bantu nga basobeddwa olwekingabwa ekyaguddewo Abantu nga basobeddwa olw'ekingabwa ekyaguddewo

 

 bayizi nga bali mu kiyongobero olwabannaabwe abaafiiridde mu kisaawe Abayizi nga bali mu kiyongobero olw'abannaabwe abaafiiridde mu kisaawe.

 

 

 

 ibadde miranga nakwaziirana ngabazadde balabye ku mirambo gyabaana baabwe Gibadde miranga nakwaziirana ng'abazadde balabye ku mirambo gy'abaana baabwe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...