TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abamu ku baana ba Zigoti bagaanyi okugenda mu lumbe

Abamu ku baana ba Zigoti bagaanyi okugenda mu lumbe

By Kizito Musoke

Added 11th August 2017

WALIWO abaana ba Enock Kato Zigoti, bannamwandu n’abakulu mu kika abaaweze nga bwe batagenda kulinnya mu lumbe olugenda okwabizibwa enkya ku Lwomukaaga.

Katozigoti111 703x422

Omugenzi Kato Zigoti

Bya KIZITO MUSOKE

WALIWO abaana ba Enock Kato Zigoti, bannamwandu n’abakulu mu kika abaaweze nga bwe batagenda kulinnya mu lumbe olugenda okwabizibwa enkya ku Lwomukaaga.

Ensonga ze baawadde mulimu okuba ng’olumbe terwatambuziddwa mu nnono, obutakkaanya ku ndabirira y’ebyobugagga by’omugenzi n’engeri Mmengo gye yayingidde mu nsonga zino.

Fred Danze, ow’olunyiriri lwa Ssemmanda e Ngugulo - Busujju, Zigoti mw’ava, yagambye nti beewuunyizza ebbaluwa eyawandiikiddwa ng’eva e Mmengo ng’ekkiriza olumbe okwabizibwa newankubadde nga baali baluyimirizza.

Yategeezezza nti ensonga ezaaweereddwa mu bbaluwa yagambye nti tezimatiza ng’okugamba nti abaagala okuyimiriza olumbe si ba mu nnyumba ya mugenzi, kyokka nga kuliko abaana b’omugenzi ne bannamwandu.

Yawakanyizza n’ekyokulangirira omusika w’omugenzi, n’ategeeza nti kuno kwali kuggya ku baakika buyinza n’abaana obw’okwefunira omusika gwe bakkaanyizzaako bennyini.

Omugenzi teyaleka kiraamo era n’omusika yamwogera mu bigambo.

Olumbe olugenda okwabizibwa terwatambuzibwa mu nkola ya nnono. Oweessiga yayimiriza olumbe, era ng’ow’omutuba n’owoolunyiriri lw’omugenzi kye bamanyi.

Mu buwangwa tebamanyi nti ow’Akasolya asobola okukka wansi n’akima olumbe olutatambuziddwa.

Stephen Ssempewo, omutaka w’essiga lya Ndibaddukirawa omuva Zigoti, yagambye nti naye eby’olumbe abiwulira mu ngambo era tewali yali alumutegeezezza mu butongole.

Kye yakoma okumanya nga luyimiriziddwa, weewaawo awulira nti waliwo abagenda okulwabya.

John Baptist Siryegaana, owessiga lya Muyanja era akulira ab’amasiga gonna 16 agali mu kika, naye yaweze nga bw’atayinza kubeera mu lumbe lutagoberedde nnono nga lutegekebwa.

Ensonda mu famire zaalaze nti abamu ku baana b’omugenzi abawera 10 ne bannamwandu bataano beeraliyiridde nga bwe batagenda kulinnya mu lumbe.

Abaana bano baludde nga bawakanya eky’okwabya olumbe nga tebasoose kukkaanya ku ndabirira ya byabugagga bya mugenzi.

Baagala basooke kulonda mannya ga bantu ab’okugatta ku nnamwandu Rose Kato baddukanye ebyobugagga by’omugenzi.

Zigoti bwe yafa abaana ne bamulekwa baatuula ne balonda nnamwandu Rose Katookulabirira ebyobugagga.

Ebikwata ku mugenzi Kato Zigoti

Abakulembeze bakungubagidde Kato Zigoti

Abakulu b’ekika bakubaganye empawa ku by’olumbe lwa Zigoti

Agambibwa okufera Zigoti ayimbuddwa

Agambibwa okufera Zigoti akwatiddwa

Abaana ba Zigoti bali 52 n’abakazi 11

Zigoti afudde baakamubba obuwumbi 2

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA