TOP

Bukedde akutwala mu Abu Dhabi

By Kizito Musoke

Added 11th August 2017

Omusomi gy’akoma okujjuza obukonge obungi, n’emikisa egiwangula gye gikoma okweyongera.

Abudhabi1 703x422

Abu Dhabi nga bwafaanana ekiro

Bya KIZITO MUSOKE
 
Bukedde akwata kisooka mu kuyiiyiza basomi be era buli lukya abawa ebinnonnoggo ebibasukkulumya ku balala.
 
Okutuukiriza kino, olupapula lwa Bukedde, nga lujaguza okuweza emyaka 23, lusazeewo okulinnyisa abasomi baalwo ennyonyi bagende mu Abu Dhabi beerabire ne ku musambi w’omupiira Christiano Ronaldo ng’agucanga ‘live’.
 
Abu Dhabi kiri mu United Arab Emirates (UAE).
 
Robert Kabushenga, akulira kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde y’alangiridde enteekateeka eno egendereddwaamu okuddiza abasomi abawagidde olupapula luno oluganzi kati emyaka 23 bukya lutandikibwawo.
 kulira ision roup obert abushenga ngannyonnyola ebyokutwala abantu mu bu habi Akulira Vision Group, Robert Kabushenga ng’annyonnyola eby’okutwala abantu mu Abu Dhabi.

 

 Akalulu akatuumiddwa TUKUTWALA ABU DHABI OLABE RONALDO LIVE kagenda kutandika okuzannyibwa mu lupapula lwa Bukedde ku Mmande nga August 14, 2017.

 
Mu lupapula mujja kubaamu akakonge k’ojjuza olwo ng’oyingidde akalulu akajja okukutuusa mu Abu Dhabi.
 
Omusomi kijja kuba kimwetaagisa okusala akakonge kano mu lupapula ajjuzeemu amannya ge n’ebirala ebimukwatako, n’oluvannyuma akatwale awali abatunzi b’amawulire gaffe oba ku wofiisi za Bukedde ezisangibwa mu kibangiriza ky’amakolero mu Kampala.
 
Okukwata akalulu okuzuula abawanguzi kujja kubaawo mu October wa 2017 olwo abawanguzi boolekere Abu Dhabi mu December. Kabushenga yategeezezza nti abawanguzi ku mulundi guno basazeewo okubatwala mu kibuga Abu Dhabi ekya United Arab Emirates beerabire ne ku muzannyi Christiano Ronaldo gwe babadde balaba obulabi ku ntimbe za tivvi ng’azannya ‘live’.
 
Bukedde azze atwala abantu e Dubai, nga ku luno tusazeewo okukyusaamu tubatwaleko mu kifo ekirala ekisingako wadde nga nakyo kiri mu nsi y’emu.
 
“Bw’oba bulijjo olya ennyama, kibeera kyetaagisa n’olya ne ku nkoko mu ngeri y’okukyusaamu”, bwatyo Kabushenga bwe yageraageranyizza Dubai gye babadde batwala abasomi ne Abu Dhabi.
 
Ronaldo, abawanguzi gwe bagenda okulaba ng’acanga omupiira ajja kuba azannyira kkiraabu ye eya Real Madrid bw’eneeba yeetabye mu kikopo kya “Club World Cup”.
 
Kino ky’ekikopo ekiwakanirwa ttiimu eziba ziwangudde ebikopo bya Ssemazinga ez’enjawulo.
 bu habi nga bwafaanana emisana 
Ekimu ku bitundu mu Abu Dhabi ekiriko amaato agacakaza abalambuzi.
 
Abasomi abanaaba tebafunye mukisa gulinnya nnyonyi, Kabushenga yasuubizza nga bw’agenda okuperereza mikwano gya Bukedde wateekebweyo ebirabo ebirala bye banaawangula.
 
Olupapula lwa Bukedde lutundibwa ku sh. 1000/- okuva mu bifo byonna awatundirwa amawulire mu ggwanga.
 
Omusomi gy’akoma okujjuza obukonge obungi, n’emikisa egiwangula gye gikoma okweyongera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.