TOP

‘Yanjokya ettaala n’okunfumita emisumaali

By Musasi wa Bukedde

Added 11th August 2017

EBIPYA bizuuse ku mukulu w’essomero lya Ndeeba Parents, muganda we bw’avuddeyo n’alaga ebiwundu okuli n’amannyo ge yamuwangulamu ng’amulanga okufuka ku buliri.

Mannyo1 703x422

Naiga ng’alaga enkovu Nakanwagi ze yamutuusaako. Mu katono ng’alaga amanno ge yamuwangulamu.

BYA SHAMIM NABUNYA

EBIPYA bizuuse ku mukulu w’essomero lya Ndeeba Parents, muganda we bw’avuddeyo n’alaga ebiwundu okuli n’amannyo ge yamuwangulamu ng’amulanga okufuka ku buliri.

Christine Naiga 19, yazze ku Bukedde oluvannyuma lw’okulaba omwana Patiece Kemigisha eyatulugunyiziddwa bbaasa w’essomero lino, Immaculate kyokka Jennifer Nakanwagi nnannyini ssomero lya Ndeeba Parents mu Ndeeba n’atayamba mwana ono. Naiga yategeezezza nti, nnyina Resty Nassuuna akolera mu Kisenyi ku luguudo lwa Ovino.

Agamba: “Nakanwagi yannona nga nkyali muto n’antwala okusoma. Yanteeka mu kisulo kyokka yantulugunya ne ntuuka n’okwebuuza oba ddala muganda wange.

Waliwo lwe yansanga nga njogera mu kibiina n’ankuba kibooko 200 n’amannyo agamu ne gamenyeka. Naguma kuba nali njagala okusoma.

 akanwagi lwe yakwatibwa ngawambye kitaawe Nakanwagi lwe yakwatibwa ng’awambye kitaawe.

 

Yantuuza ebibuuzo bya PLE emyaka ena nga buli mwaka aηηamba nti nkoze bubi kyokka ng’ebivudde mu bigezo tabindaga! Bwe namugamba nti njagala kulaba ku maama, yakwata ettaala y’omukono n’aginkuba.

Ettaala yanjokya omukono kyokka teyakwatibwa kisa, n’anfumita n’emisumaali ku magulu. Yantegeeza nti akyayagala mmwoleze obuwale bwe ng’ali mu nsonga!

Kati njagala okweyogerayo okusoma kyokka sirina satifi keeti ya PLE wadde Pass Slip.

Nsaba minisitule y’ebyenjigiriza etuyambe enoonyereze ku ssomero lino kuba lisusse okutulugunnya abayizi,” Wabula Nakanwagi yategeezezza nti Naiga ye yamukuza kyokka ku by’okumutulugunya amuwaayiriza.

Yagambye nti ensonga zaabwe ziri mu kkooti e Nsangi kuba Nassuuna (nnyina wa Naiga) ayagala kubba bintu bya kitaawe.

Nakanwagi yayongeddeko nti essomero yaliguza bba, Joel Ssebadduka era eby’okukuba omwana emiggo yabirabidde mu Bukedde w’Olwokubbiri.

Abatuube b’omu Ndeeba baalumirizza Nakanwagi okutulugunya abayizi ku ssomero lino kyokka nti, abazadde tebaagala kutwala nsonga zaabwe ku poliisi kuba ebisale by’essomero lino bitono.

YATULUGUNYA NE KITAAWE

Gye buvuddeko, Nakanwagi yakwatibwa poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’okuwamba kitaawe Lubega n’amussa ku njegere okumala emyezi ena ng’abooluganda bonna tebamanyi gy’ali!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono