TOP

Poliisi ewera kukozesa lyanyi ku babbi

By Eria Luyimbazi

Added 11th August 2017

POLIISI eweze okukozesa eryanyi ku babbi abateega abantu ku luguudo lwa Queens Way.

Hanifa1 703x422

Mwesigwa ng’awuliriza Hanifa Basemere eyabadde yeemulugunya ku baakwata muganzi we.

Bya ERIA LUYIMBAZI

POLIISI eweze okukozesa eryanyi ku babbi abateega abantu ku luguudo lwa Queens Way.

Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Frank Mwesigwa bwe yabadde asisinkanye abatuuze b’omuluka gwa Katwe II mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwabadde mu Katenda Zooni yagambye nti ababbi ababadde babba abantu ku luguudo luno baakufuna akaseera akazibu kuba poliisi egenda kukozesa eryanyi okubalwanyisa.

“Mbadde nfuna okwemulugunya okuva mu bantu nti waliwo ababbi ababateega ne babba okuva ku Ssaawa ya Kkwiini okutuuka e Kibuye kwe kusalawo okutuuza olukiiko luno n’okulabula abeenyigira mu muze guno okuguvaako kuba bajja kukwatibwa bavunaanibwe”, Mwesigwa bwe yategeezezza.

Yagambye nti poliisi egenda kutandika ebikwekweto by’okubakwata kuba ababbi babadde babuzizza abantu emirembe nga batuuse n’okwefuga ekitundu kino.

Yategeezezza nti waliwo ababbi abagamba nti baalokoka ne baleka omuze guno wabula nga balemeddwa okulaga nti obubbi n’obumenyi bw’amateeka obulala baabuvaamu n’abalabula nti ebikwekweto bino tebigenda kubataliza.

Yagambye nti waliwo abaalokoka obubbi mu Katwe ne babayamba okutandikawo pulojekiti z’okwekulaakulanya okusobola okusikiriza abalala babuveemu babeegatteko n’asaba ababbi abaagala okubeegattako bakikole awatali kukakibwa.

Yalagidde abatuuze okumuwa amannya g’abantu be bamanyi nti beenyigira mu bubbi n’abakakasa nti ssinga banaababuulira bajja kubanoonyerezaako babakwate.

Abavubuka abaalokoka baatudde ku ludda lwabwe ne be balumiriza okuba ababbi ne batuula ku ludda olulala.

Abamu ku bavubuka beemulugunyizza nga bwe waliwo abaalokoka obubbi abasusse okubatulugunya nga babakwata n’okubasaba ssente babakkirize okubeera ku kyalo.

“Tulina ekizibu nti waliwo bannaffe abagamba nti baalokoka obubbi abasusse okutuyigganya nga batusaba ssente era bw’oba tozirina nga bakukwata, kati tunaava tutya mu bubbi nga batukwata “ Deo Muwanguzi bwe yategeezezza.

Muwanguzi yagambye nti abaalokoka obubbi nga bakulemberwa Kamada Ntege amanyiddwa nga ‘Sure Fire’ basusse okubakwata.

Mwesigwa yayise abantu abalina okwemulugunya era abantu baabadde bavumu ne bamubuulira awatali kutya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...