TOP

Bakutte Crime Preventer asaba abatuuze ssente

By Rogers Kibirige

Added 12th August 2017

ABATUUZE b’e Nansana mu West I Zooni bataayizza omukwanaganya w’aba ‘Crime preventer’ ne bamuggalira mu nju y’omutuuze gwe yabadde atiisatiisa okukwata ssinga tamuwa ssente.

Saba1 703x422

Nsamba (ku ddyo) gwe baakwatidde mu nju ya Musoke ng’abadde atiisatiisa okumukwata.

William Nsamba omukwanaganya wa ba ‘Crime preventer’ ku poliisi y’e Nansana ye yataayiziddwa abatuuze bwe yabadde agenze mu maka ga Fayizo Musoke gwe yabadde atiisizza okukwata.

Ku Lwokuna Nsamba yakedde mu maka ga Musoke n’amutegeeza nga bw’amunoonyerezaako ku musango gw’okubeera n’emmundu era n’amulagira nti obutamukwata, aggyeko essimu ze zonna azisuule mu kaabuyonjo olwo amuwe ssente amuleke.

Musoke yakubidde omumyuka wa ssentebe wa LC I, Oliver Musisi eyagenzeeyo.

Kyokka naye Nsamba yamutiisizza n’asalawo okumuyitira poliisi n’emukwata.

Musoke yannyonnyodde nti wiiki bbiri emabega, poliisi yakwata omu ku bavubuka abaamuguza ebyuma ebikadde (Scrap) kyokka yalabye tayimbulwa, kwe kugenda ku poliisi y’e Wakiso okumuggyayo. Eno bwe yatuuseeyo, baamukutte ne bamuggalira.

Yakubidde owa LC I y’ekitundu gy’abeera, Oliver Musisi eyazze n’amuggyayo ku Lwokusatu. Agattako nti, oluvannyuma waliwo abantu abaamukubidde essimu ne bamugamba nti, owa poliisi SP Hillary amunoonya.

Wabula Hillary bwe yategedde nti Musisi ayingidde mu nsonga za Musoke, yakubidde Musisi n’amutiisatiisa.

Musoke yategeezezza nti bwe yamala okukwatibwa, Nsamba ne Hillary baagenda ku poliisi y’e Wakiso ne bamweyanjulira ng’abakungu ba poliisi abavudde e Naggulu era ne bamusaba emitwalo 50 okumuyamba ayimbulwe n’abawaako emitwalo 30 ze yasindika ku ssimu ya Nsamba.

Hillary yagenze ku poliisi y’e Nansana n’atabukira Musoke ng’ayagala kumukuba.

Yalabye abaserikale bajja n’adduka. Oluvannyuma Musisi ne Fayizo ensonga baazongeddeyo ku kitebe kya poliisi ekikwasisa empisa ekya PSU e Naggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cab1 220x290

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa...

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa nga 17 omwezi ogujja

Tr2 220x290

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka...

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka yo

Say1 220x290

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu...

Oluwaanyi ddagala ku ndwadde z'ensusu

Jab2 220x290

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya...

Endwadde 9 omujaaja ze guwonya

Lip1 220x290

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye...

Alumwa ennyingo kola dduyiro ozikkakkanye