TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa S2 bamugaanyi okusiba enviiri ne yeesuula mu kidiba n'afiiramu

Owa S2 bamugaanyi okusiba enviiri ne yeesuula mu kidiba n'afiiramu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2017

ABATUUZE b’e Nawanzu mu ggombolola y’e Nakigo mu disitulikiti y’e Iganga bawunikiridde, omuwala ow’emyaka 18 bwe yeesudde mu kidiba n’afa.

Siba 703x422

Poliisi ng’ennyulula omulambo gwa Musubika mu kidiba.

BYA Fatuma Musubika abadde asoma S2 ku Buckley Buluza SS e Iganga yasangiddwa ng’afiiridde mu kidiba ky’awaka.

Kiteeberezebwa nti yeesuddemu mu bugenderevu olw’okumugaana omusono gw’enviiri (cut) gwe yabadde asaze.

Nnyina Florence Mukisa yagambye nti muwala we yasaze enviiri nga mu mabbali g’omutwe azimazeeko kyokka nga waggulu nkulu.

Agattako nti, yamuwabudde nti tezikkirizibwa ku ssomero n’amulagira addeyo bazimaleko zonna, omwana n’agaana.

Bwe yagenze ku ssomero, abasomesa baamulagidde azisaleko kyokka n’akikola mu bunyiivu obw’ekitalo.

Oluvannyuma yababuzeeko ne bamunoonya buli wamu nga tebamulaba.

Omutuuze eyakedde ku kidiba okukima amazzi ye yawulidde ekivundu n’atemya ku balala.

Poliisi y’e Iganga yazze n’eggyamu omulambo n’egutwala mu ddwaaliro e Iganga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...