TOP

Omuyimbi Lutalo aleppuka na gwa bukumpanya

By Ponsiano Nsimbi

Added 14th August 2017

OMUYIMBI David Lutalo ne maneja we Ivan Lukwago baguddwako omusango ku poliisi ye Katwe gwa kujja ssente ku musuubuzi w'omu Kampala John Kabanda mu lukujjukujju.

Lutalo1 703x422

David Lutalo

 Bya PONSIANO NSIMBI  

OMUYIMBI David Lutalo ne maneja we Ivan Lukwago  baguddwako omusango ku poliisi ye Katwe gwa kujja ssente ku musuubuzi w'omu Kampala John Kabanda mu lukujjukujju.  

Kabanda agambye nti okugenda ku poliisi kyadiridde maneja wa Lutalo n'omusuubuzi Micheal Kaddu okumuguza ekivvulu ''Gyenvudde wa David Lutalo'' ekibadde ekyokubera ku Freedom City nga 16 Sept omwaka guno kyokka oluvanyuma ne bamwefuulira ng’abatwalidde balansi.  

  isiiti eyasalirwako ekifo kya reedom ity awaali awookubeera ekivvulu Lisiiti eyasalirwako ekifo kya Freedom City awaali awookubeera ekivvulu

 

Agamba nti yasooka nasasula obukadde 40  ku Account ya Micheal Kaddu nga 1 August 2017 oluvanyuma lw'okukkaanya ne Lutalo ne Maneja we  mu bbanka ya Centenary olwamala  nasasula ne kifo ekya Freedom city awabadde awokubeera ekivvulu obukadde 7.5 kuno kwossa nez'obulango z’agamba nti zisoba mu bukadde 5.  

 isiiti ya entenary bank kwebasasulira utalo ekivvulu Lisiiti ya Centenary bank kwebasasulira Lutalo ekivvulu

 

Bano batudde  mu woofisi yakulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South Bitali Ssentamu  ng'olukiiko luno lwetabiddwamu Looya wa Lutalo Haruna Kagoddo, Micheal Kiggundu eyaguza Kabanda ekivvulu, John Kabanda  ne Maneja wa Lutalo Ivan Lukwago era gye biwunzikidde nga Looya wa Lutalo asabye babaweeyo wiiki emu ensonga bazimalire ebweru wa poliisi .  

 ile omusango gwa utalo kweguwaabiddwa File omusango gwa Lutalo kweguwaabiddwa

 

Kyokka Kabanda asigadde akyawera nga bwayagala bamuliyirire bukadde 200 . Omusango guli ku Fayiro SDREF 33/12/08/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye