TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

By Eria Luyimbazi

Added 17th August 2017

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

Ji1 703x422

Vicent Ssekate ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire olwaleero

POLIISI ekutte abasirikale baayo 10 n'ebaggalira ng'ebalanga okukwata obubi emisangi egy'enjawulo n'okwenyigira mu buli bwenguzi

Bw'abadde ayogererera mu lukung'aana lwa bannamawulire omwogezi w'ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku nneeyisa ya Poliisi (PSU)Vicent Ssekate ategeezezza nti abasirikale bano ekibakwasizza ky'azuuliddwa nti bamaze ebbbanga nga benyigira mumisango omuli okulya enguzi, okukwata obubi fayiro z'emisango ssaako n'okuggya ssente mu bantu mulukujjukujju

Abakwate baggyiddwa ku poliisi ez'enjawulo omuli Katwe, Nateete, Bujuuko, Kasangati, Kiganda ne Kiboga.

Mu bakwatiddwa mulimu D/AIP Edward Kasango akulira Poliisi e Katwe, Sulaiman Kato owa Flying Sqaurd nga kigabibwa nti bano bakwata omuntu abeera awaabwe omusango ne bamuggalira ate gwe bawaabidde ye ne bamuleka n'agenda.

Ssekate agambye nti PSU era eri mu kunoonyereza ku basirikale 25 abanoonyereza ku misango gy’ettaka mu kitundu kya Savanah ( Greater Luweero)  olw'okukwata obubi fayiro , okwenyigira mu kubba ettaka, okulya enguzi era nga waliwo Fayiro 30 ezatwalibwa okwongera okwekenneenya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka