TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yefudde kafulu mu kubba embuzi n'alekawo ekibaluwa poliiisi emukutte

Abadde yefudde kafulu mu kubba embuzi n'alekawo ekibaluwa poliiisi emukutte

By Paddy Bukenya

Added 17th August 2017

Abadde yefudde kafulu mu kubba embuzi n'alekawo ekibaluwa poliiisi emukutte

Mbu1 703x422

Yasin agambibwa okubba embuzi

SSEMAKA abadde abba embuzi z'abatuuze n’azibaaga n'abalekerawo ekiwandiiko ekibagamba nti tebatya kulya bitundu byabalekeddewo kubanga abaaze musiraamu asimattuse okuttibwa abatuuze bwe bamutaayizza ne bamusanga n'embuzi enzibe ng'azibaaga.

Yasin Kakeeto omutuuze we Kyasanku mu Mpigi town council y'akwatiddwa Lubona ng'abaaga embuzi z'abatuuze mu lusuku ne bamugoba ne bamukwata kyokka ne bamukuba emiggo ne bamwasa omutwe poliisi ye Mpigi ne mutaasa nga essaati yonna etobye omusaayi.

Kakeeto okumukuba enyo kiddiridde okugaana okwogera ekibinja ky'ababbi baabadde nabo nga babba embuzi zabatuuze ezisoba mu 10 nga bazibaaga ne balekawo omutwe n'ebyenda olwo ne basuulawo ekibaluwa ekigamba nti “ebyo temutya kubirya kuba abaaze musiraamu”

Okusinziira ku omu ku batuuze ababbiddwa embuzi ze bbiri zebasanze ne Kakeeto nga azibaaga agambye nti yawulidde embuzi ze nga ziguluba mu kiyumba kyokka bwafulumye ababbi ne bamuwulira ne badduka olwo n'akuba enduulu baliraanwa bonna ne bataayiza kyokka babadde bagudde kkava Kakeeto n'ajja n'ekikutiya kya muwogo nga agezaako okunoonya takisi kyokka olulabye abantu nadduka ne bamugoba ne bamukwata.

 

Mu ku tiya Kakeeto gy'abaddenayo basanzeemu muwogo gw'asimye ewa Ssalongo James Ssebaddawo ne nyama yembuzi kyokka bwe bamukubye emiggo n'abatwala ewabadde embuzi za Lubega z'abadde akyabaagira mu lusuku.

Ababbi bano bakozesa akakodyo kokusala omutwe gw'embuzi n'ebigere ne babisuula mu mu mulyango gw'ekiyumba we bazibbye olwo ne bazitwala ebbali w'ekiyumba ne babaaga bulungi ne batwala ennyama.  

Akulira poliisi ye Mpigi Eria Twesigye agambye nti omukwate aguddwako emisango gy'okubba embuzi ne muwogo wabatuuze ku fayiro namba SD;27/15/08/2017 nga bwe banonyereza ku baabadde akolagana nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19