TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaami b'amasaza babanguddwa ku kawuka ka siriimu

Abaami b'amasaza babanguddwa ku kawuka ka siriimu

By Dickson Kulumba

Added 17th August 2017

Abaami b'amasaza babanguddwa ku kawuka ka siriimu

Pk1 703x422

ABAAMI b’amasaza mu Buganda bakubiriziddwa okwongera amaanyi mu kubuulirira abantu baabwe okwewala obulwadde bwa siriimu nga batandikira ku kubakunga okwekebeza okumanya obulamu bwabwe we buyimiridde.

Bino byogeddwa Dr. Fiona Kalinda mu musomo gw’okubangula abaami b’amasaza mu Buganda ogubadde e Bulange- Mmengo n'ategeza nti ebyanoonyerezebwa ku bulwadde buno mu 2015 byalaga nti abantu 40,200 bebaafuna obulwadde buno mu Buganda okuva ku 83,000 mu Uganda yonna ate abantu 665,069 mu Uganda bebetaaga eddagala nga 382,000 bali mu Buganda.

Dr. Kalinda yanokoddeyo Disitulikiti okuli Mityana, Bukomansimbi, Wakiso, Mubende, Rakai, Sembabule ne Buvuma ng’ezisingamu obulwadde buno mu Buganda.

 bamu ku bannamawulire abeetabye mu musomo gwebyobulamu Abamu ku bannamawulire abeetabye mu musomo gw'ebyobulamu

 

Obwakabaka bwa Buganda buli mu kubangula ebiti by’abantu eby’enjawulo okuli Abataka abakulu b’ebika, abamasaza ng’olunaku lw’eggulo basomeseza Bannamawulire, Dr. Ben Mukwaya nga ye Minisita w’ebyobulamu e Mmengo okutwala obuvunanyizibwa bwabwe ng’abasawo abasooka okulabula abantu ba Kabaka ku kabi akaleetebwa obulwadde buno.

Kinajjukirwa nti Kabaka Mutebi II yaweebwa engabo y’okukulemberamu abasajja n’abalenzi okuvaayo okulwanyisa obulwadde bwa siriimu nga Minisita w’ebyobuwangwa e Mmengo, Denis Walusimbi Ssengendo asinzidde mu musomo guno n'asaba abantu bakole ebyo Kabaka by’abakubiriza ate baddeyo okutambulira ku nnono n’obuwangwa bwabwe omuli amakubo g’okwewala endwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA