TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sheikh Ssemmambo atenderezza omulimu ogukoleddwa SK Mbuga

Sheikh Ssemmambo atenderezza omulimu ogukoleddwa SK Mbuga

By Martin Ndijjo

Added 18th August 2017

Sheikh Ssemmambo atenderezza omulimu ogukoleddwa SK Mbuga

Ku1 703x422

Sheikh Ssemmamba ng'abuuza ku mugagga SK Mbuga ku ddwaliro lye e Makindye

OMUMYUKA wa Muft wa Uganda asooka Sheikh Abdallah Ssemmambo akubirizza abavubuka abalina ku ssente okuzikozesa obulungi nga bazissa mu bintu ebikalu ebirabwako ate ebisobola okuzza amagoba okusinga okuzoonoonera mumasanyu.

Sheikh okwogera bino abadde ku ddwaliro ly'omugagga SK Mbuga gye yamusise okumulambuza omulimu gw'akoze e Makindye Lukuli mu Kawempe zooni.

Sheikh atenderezza omulimu omugagga SK Mbuga gw'akoze era n'asaba abantu bonna obutajaajaamya ssente wabula bafube okuzissa mu bintu ebibazimba.

SK Mbuga ategeezezza Sheikh nti waadi essatu zimaze okuba nga zisitulwa bulungi kwezo ettaano zaasuubira okuzimba ng'ekizimbe kyonna kiwedde era omulimu gugenda bukwakku ssaako n'ettaka eddala ly'aguze okwongera okugaziya obulungi ekifo kisobole okulabika obulungi nga kiwedde.

Eddwaaliro lino ery’omulembe okusinziira ku ndabika ya pulaani yaalyo Mbuga agamba ligenda kubeera n’ebitanda ebissuka mu 100 era lirimu kiraasi bbiri okuli obujjanjabi obw’abantu baabulijjo nga n’edwadde ezimu bajjanjabira bwereere ssaako obujjanjabi obw’abakungu ‘private ward’.

Ayongeddeko nti amaze n’okulagiriza ebimu ku byuma eby’omulembe ebigenda okukozesebwa Okuyambe ku Bannayuganda okutindiga eng’endo nga bagenda ebweru.

Eddwaaliro lino SK Mbuga aligasse ku bizimbe ebirala by'alina okwetoloola Kampala n’emiriraano omuli eby’amaduuka ne n’ebipangisibwa okusulwamu (Apartments) nga n’ebisinga ku bino bisangibwa mu bitundu by’e Buziga, Konge, Munyonyo, Bbunga ne Muyenga   Ssaako mmotoka ez’ebbeeyi ezisimbye mu bikomera bye okuli; Rolls Royce, Ferrari, Hummers Hummers, Ferrari, Rolls Royce, Range Rovers, BMWs, Mercedes,Agulidde abatuuze abyulensi.

Ng’ayita mu kibiina kye ekya SK Mbuga Foundation Africa aliko mmotoka za ambyulensi ez’omulembe nnya (4) ze yatuusiza nga biri ku zino aziwaddeyo okuyamba ku bantu b’omu kitundu kye.

Emu yakuyamba ku bantu b’e Konge- Buziga gy'ensula ate enddala ndi mukwogerezeganya n’aba poliisi y’e Kabalagala wemba ngiteeka okuyamba ku bantu abasula n’okukolera mu bitundu ebiriraanyewo"Bwatyo SK Mbuga bwategeezezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’