TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu batemyetemye omukuumi ne bamutta e Kyebando

Abatemu batemyetemye omukuumi ne bamutta e Kyebando

By Moses Lemisa

Added 18th August 2017

Abatemu batemyetemye omukuumi ne bamutta e Kyebando

Tem1 703x422

Inoceny Omio

ENTIISA egudde mu Camuka Zooni e Kyebando ku luguudo lwa Northern by pass oluvannyuma lw'abatuuze okusanga omulambo gwa mutuuze munnaabwe nga bamutemyetemye omulambo gwe ne bagusuula ku nkulungo y'e Kyebando.

Inocent Omio 26 abadde omutuuze w'e Kisalosalo e Kyebando ng'abadde mukozi wa Alert security group y'atemeddwatemeddwa abantu abatannategeerekeka omulambo ne bagusuula ku nkulungo e Kyebando.

 

Omulambo gwa Omio guzuuliddwa abantu abadde bakedde okugenda okulola abakubidde poliisi etuuse mu kifo ne basanga ng'omulambo gwafumitiddwa ebiso ku mutwe, gugyiddwaamu empale ssaako n'ebiwundu eby'amaanyi ku bitundu by'omubiri.

James Odaga muganda w’omugenzi ategeezezza nti muganda we ku Lwokuna teyagenda ku mulimu ng’era yakomye okumalabo ssaawa ssatu ez'ekiro okugenda ewa muganda waabwe Julius Keronga asula ku luguudo lwa Mawanda Road. 

Agambye nti mukenda alina ebbaala we yasookedde eya West Nile Bar and Pub esangibwa mu kisalosalo nga ewa Muganda we teyatuuse nga kirabika abatemu  baamubazizza ng'ava mu bbaala  ne bamuttira ne bamuttira okumpi ne waasula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’