TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Guvnor Ace alaze eyamusuuza nnamukadde we ow'emyaka 68

Guvnor Ace alaze eyamusuuza nnamukadde we ow'emyaka 68

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2017

Guvnor Ace alaze eyamusuuza nnamukadde we ow'emyaka 68

Hu1 703x422

Guvnor Ace ne Justine nga balya obulamu.

OMUYIMBI Guvnor Ace ng’amannya ge amatuufu ye Ronald Ssemawere afunye embooko y’omuwala emumaleko ‘situleesi’ ya nnamukadde Omuzungu Mona Lisa Larsson ow’emyaka 68! Omuwala ono kati gw’apepeya naye gwe yayise Justine, Munnayuganda nga babeera bonna e Sweden.

Bano balina n’ebifaananyi bye bazze beekubya nga banyumirwa obulamu omuli n’eby’omuwala ng’afukamidde amunywesa omwenge ogw’ebbeeyi, amukuba kiisi ku ttama n’ebirala nga bali mu mmotoka beevuga ebiraga nti kati y’ali mu kintu.

Bino we bibeereddewo nga Lisa ali mu Uganda atalaaga mikutu gy’amawulire egy’enjawulo alombojja engeri Guvnor Ace gwe yatwala e Sweden gye yamuddukako ng’eno bw’alaga omuvubuka Aziz Mawanda ow’emyaka 19 gw’agamba nti gw’azizza mu kifo kye.

Guvnor Ace bwe yabuuziddwa ku nkolagana ye ne Justine yasoose kutegeeza nti awulira bingi ebyogerwa naye omuwala ono mukwano gwe era amutenda nti yakuzibwa n’empisa y’ensonga lwaki amufukaamirira n’okweyisa mu mbeera ey’omuntu ali mu laavu.

 AYOGEDDE KU LAAVU YE N’OMUZUNGU Bwe yabuuziddwa ekituufu ekyamutabula n’Omuzungu okutuuka okumuddukako, Guvnor Ace yasoose kutegeeza nti ye n’Omuzungu tebabeerangako mu laavu, kaali kazannyo akakkomekerezebwa amangu ddala nga baakatuuka e Stockholm mu Sweden.

“Olw’okuba ffembi buli omu alina kye yali ayagala ku munne, Lisa yali anoonya kufuuka ‘sereebu’ kale bwe yansaba okulabikira mu vidiyo yange eya ‘Mukadde’ mu kifo ky’okumpa ssente namusaba antwale e Bulaaya Kino okutuukirira amangu twakkiriziganya okukola embaga ey’ekiguumaaza ne tugenda ewa diisi kyokka kontulakiti yange naye yali nti olutuuka e Sweden eby’obufumbo nga bikoma awo buli omu ng’akwata lirye era kino bwe kyali nga kati ndi mu kuzimba linnya lyange buto ebya laavu bye mwogerako nze sibimanyi.

GUVNOR ACE ALI MU BUZIBU? Omu ku mikwano gya Guvnor Ace ataayagadde kumwatuukiriza mannya naye ng’abeera Sweden gwe twayogede naye yategeezezza nti Guvnor Ace ali mu kattu oluvannyuma lw’Omuzungu okusaba kkooti e Sweden ebagattulule asobole okufuna omusajja omulala.

Wabula ono agamba nti Guvnor Ace eby’okuteeka emikono ku mpapula za Lisa yabigaanye nti kubanga ssinga kino kikolebwa kiba kitegeeza obufumbo kw’ayimiridde e Sweden bujja kuba buweddewo ng’aliyo mu bukyamu ate nga tannaba kuweza myaka esatu egikkirizibwa mu mateeka g’e Sweden omuntu abadde mu bufumbo okwetongolerako.

Ayongerako nti mu mbeera eno ssinga Guvnor Ace agaanira ddala kyokka nga tewali nsonga ya maanyi gy’awa, kiba kitegeeza nti Lisa alina okugumiikiriza emyaka ebiri n’ekitundu okuyitawo okusinzira ku mateeka olwo kkooti emukkirize okugenda mu maaso n’okufuna omusajja omulala awatali kwebuuza ku muntu mulala.

Wabula Guvnor Ace bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yazzemu nti bino tabimanyi ye ky’amanyi enkolagana ye ne Lisa yaggwawo era buli omu waddembe okufuna omwagalwa omulala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans