TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko k’ebyettaka kakunyizza Hajji Swaib Yiga n’atuuyana

Akakiiko k’ebyettaka kakunyizza Hajji Swaib Yiga n’atuuyana

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2017

Akakiiko k’ebyettaka kakunyizza Hajji Swaib Yiga n’atuuyana

Gu1 703x422

Hajji Swaib Yiga (ku kkono) nga bamukunya mu kakiiko.

HAJJI Swaib Yiga Mukasa azze agoba abantu ku ttaka e Nakaseke ne yeekomya yiika ezisoba mu 1,000 yatuuyanye ng’akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamutadde ku nninga annyonnyole engeri gye yalifunamu. Baasoose kumuwa mukisa ategeeze akakiiko ky’ayagala kakole n’akasaba okubeera ak’amazima n’obwenkanya, kawulirize bulungi n’obwegendereza bye yabadde agenda okunnyonnyola nti kajja kufuna amazima gakayambe ne Uganda okutwalira awamu.

Abatuuze ku byalo eby’enjawulo okuli Senda, Balatira, Naluvule, Mizimbo, Nkozi, Kyetume, Manywa n’ebirla beekubira enduulu mu kakiiko kabataase ku Hajji Swaib Yiga abagobaganya okuva ku bibanja byabwe nga tabawadde mukisa kwegula wadde okubaliyirira mu ngeri ematiza. Yiga yawerekeddwaako munnamateeka we, Stanley Kawalya owa KNN Advocates.

Bwe yagasimbaganye n’akakiiko akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire, baamutadde ku nninga annyonnyole ekimutulugunyisa abantu. Omulamuzi yamulagidde annyonnyole ku by’omwana, Steven Mukumbya 15, eyazze mu kakiiko n’amulumiriza okumutulugunya n’atuuka okukwata magalo n’amunyiga obusajja ng’amulumiriza okumubba.

Yiga yabyegaanyi Omulamuzi kwe kumubuuza lwaki yagaana okugenda ku poliisi okukola sitetimenti. Yategeezezza nti yabadde yeekubidde enduulu ewa Ssaabawaabi wa Gavumenti era fayiro yabadde yagiyise bagireete e Kampala okuva e Nakaseke. Yawaddeyo ebbaluwa okukakasa kino ng’eva mu bannamateeka ba Rwabogo & Co. Advocates eraga nti omusango guli ku fayiro CRB 660/2017 kyokka munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya yagenze okugisoma ng’eraga kwemulugunya kwa Swaib nti omusango ogumuvunaanibwa gwa ngassi kyokka tafunye bwenkanya.

Omulamuzi yakangudde ku ddoboozi n’amulagira agende ku poliisi e Nakaseke omwana gye yawaaba omusango akole sitetimenti. Yiga yayanukudde nti yabadde yagenze e Kamwokya n’akola sitetimenti ku nsonga eyo wabula akakiiko bwe kaabadde kaabuka, Omulamuzi n’alagira abaserikale bamukwate bamutwale gye yabadde agamba nti gye yakoledde sitetimenti kubanga yabadde atumyeyo abantu ne bamutegeeza nti teyagikoze, bwe bakizuula nga teriiyo bamuggalire ku poliisi e Wandegeya.

Swaib yakubye essimu emirundi egy’enjawulo naye ng’alabika yonna tafunayo buyambi bwe yabadde anoonya ki?. Yagezezzaako okugiwa abaserikale boogere n’omuntu eyabaddeko ne bagaana. Omulamuzi yagambye nti yabadde talaba kiti kituufu mw’ayinza kussa Swaib okusinziira ku ngeri gy’atulugunyizzaamu abato n’abakulu okusinziira ku bujulizi obuzze mu kakiiko.

Yamubuuzizza nti awo we yabadde atudde mu kakiiko singa bamuyimiriza ne wabeerawo omuntu amunyiga obusajja ye awulira atya. Swaib yagambye nti ye muntu alumirirwa abalala era yatwala enkulaakulana ku kitundu. Omulamuzi yamubuuzizza oba waliwo eyamusaba okugendayo n’asirika.

Yamugambye nti engeri gy’alumirirwa abantu amusomere ekiwandiiko kye yamuwadde, yabadde ndagaano gye yakola n’omukyala, Grace Nambooze ng’alaga nti emmere ye eyali mu nnimiro yali amuliyiridde 50,000/-

OMUPUNTA YEJJUSA OKUKOLAGANA NE YIGA: Francis Barungi eyapunta ettaka eryatunuzizza Swaib Yiga ebikalu, ye yasoose mu kakiiko n’akannyonnyola nti yejjusa okubeera nga yakolagana ne Yiga kubanga teyamusasula ssente ze yakolera, ettaka lye baali bakkaanyizza waakiri ly’abeera amuwa yeesasule nalyo yaligaanira bwebatyo ne baawukana nga tebakkaanyizza era Barungi yawamba ekyuma kya Swaib abapunta kye baakozesa okukuba ettaka ayagala asooke kumusasula.

Swaib yagambye nti baali bakkaanyizza obukadde 50 n’amuwaako 42 kyokka talina we yawandiika naye nga loogi gye yamusasuliranga 20,000/- ye yali atereka lisiiti zaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo