TOP

Lukwago azzeemu okubanja omusaala gwe

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2017

Lukwago azzeemu okubanja omusaala gwe

Fu1 703x422

Lukwago

LOODI Meeya, Erias Lukwago awandiikidde omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti Mwesigwa Rukutana ng’amujjukiza omusaala gwe gw’abanja ogw’obukadde obusoba mu 500.

Mu bbaluwa eyawandiikiddwa omumyuka wa Loodi Meeya Sarah Kanyike, yategeezezza nti, akimanyi nti Katikkiro wa Uganda, Ruhakana Rugunda yalagira Rukutana okukola ku nsonga y’omusaala guno kyokka tewanaabawo kikolebwa.

Yagasseeko nti, ensonga eno ezze ereetebwa mu bajeti za kkanso emirundi ebiri mu ya 2016/17 ne 2017/2018 naye nga tekolebwako. Yayongeddeko nti, ensonga eno, olukiiko lwa KCCA olufuzi lwasalawo eve mu ddiiro asasulwe ssente ze wasobole okuddawo enkolagana ennungi wakati wa ofiisi ya Loodi Meeya n’abakozi ba Gavumenti wabula ne kitakolebwa.

Ensonga eno, Palamenti yagiyingiramu era ne bakkaanya asasulwe ssente ze zonna, ekintu ekitakoleddwa. Lukwago mu kiseera kino atabuddwa kuba tafunanga ssente ze ate n’enteeseganya ziringa ezaafa kwe kusaba Rukutana okuddamu okukola ku nsonga eno asobole okusasulwa ssente ze kuba amulinamu obwesige nti kino akisobola.

Ebbaluwa yaweereddwaako abantu ab’enjawulo okuli, Katikkiro wa Uganda, baminisita ba Kampala ababiri, minisita w’ensonga za Kampala mu Gavumenti ey’ekisiikirize ne dayirekita wa KCCA. Lukwago yagobwa mu ofiisi mu bukyamu nga November 25, 2013 mu lutuula lwa kkanso olwakubirizibwa eyali minisita wa Kampala n’ensonga z’obwa pulezidenti, Frank Tumwebaze.

Bwe yagobebwa n’omusaala gwe ne guyimirizibwa okumala emyaka esatu okutuusa ekisanja lwe kyaggwaako nga tasasuddwa ng’abanja 562, 000,000/- . Mu kaweefube w’okubanja ssente ze, Loodi Meeya awaabye emisango egiwerako mu Kkooti Enkulu kyokka tannaba kubaako kyafunamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...