TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okugunjula abaana

Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okugunjula abaana

By Henry Nsubuga

Added 19th August 2017

Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okugunjula abaana

Kat1 703x422

Katikkiro ng'ali ne nnannyini w'essomero lya Kwagalakwe Jonathan Ntulume

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga akalaatidde abantu mu Buganda okukomya okuwoza Kabaka awangaale nga bye bakola tebitwala Buganda mu maaso.
 
Katikkiro agambye nti ensi yonna okukula erina okuba ng’esoosowaza eky’okugunjula abaana n’okubatwala mu masomero ne basoma.

Okwogera ebyo, Mayiga abadde aggulawo ekizimbe kya myaliiro 4 ku ssomero lya Kwagalakwe P/S ekyanzimbiddwa dayirekita waalyo Jonathan Ntulume.

 
Mayiga akubirizza abantu mu Buganda okukomya omuze ogw’okuwozanga nti buli mugagga mulogo mbu na buli bbizinensi ey’amaanyi nnyiniyo ali mu gavumenti.

Omulabirizi eyawummula owa Central Buganda Jackson Matovu asiimye Katikkiro olw’obukozi bw’ayolesezza mu bbanga ly’amaze ng’akuuma ddamula okuva Kabaka lwe yamumukwasa n’agamba nti kyakulabirako kirungi eri Bannayuganda bangi.

Ye dayirekita Ntuluma alaze okusomoozebwa bw’ategeezezza nti olw’okuba ebizimbisibwa birimu ebicupuli bingi ng’abantu bangi bwebazimba ebizimbe bigwa, olwo bbo ababizimbye ne biyimirirawo abantu baboogerako nti balogo oba nti mu misingi baasaddakiramu abantu ekitali kituufu.

Ntulumye asabye abantu okubeera abeesigwa n’agamba nti nabo ssente ezikola bino bazeewola mu bbanka  abazadde bwe basasula fiizi nga basasula amabanja.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo