TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baatugatta ne baze e Namirembe ate baddamu batya ne bamugatta mu kkanisa y’emu!

Baatugatta ne baze e Namirembe ate baddamu batya ne bamugatta mu kkanisa y’emu!

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2017

Olw’okuba Ekkanisa terina kompyuta zitereka bifa ku bagole be bagatta, eziyinza okumanya ani agattiddwa wa mu biseera ki, ekola ensobi oluusi ezivaako okusasika kw’amaka.

Bya BASASI WAFFE

EBYAWANDIIKIBWA mu kitabo ekitukuvu nti, ‘Katonda ky’agasse awamu tewalibaawo akyawukanya’ bikyalina amakulu ensangi zino?

Kale bwe kiba nga bikyalina amakulu lwaki abagatta abagole tebasooka kunoonyereza nnyo ku bantu ababatuukirira nga baagala okugattibwa ne bamanya ebibakwatako?

Olw’okuba Ekkanisa terina kompyuta zitereka bifa ku bagole be bagatta, eziyinza okumanya ani agattiddwa wa mu biseera ki, ekola ensobi oluusi ezivaako okusasika kw’amaka.

Kino kireese obunkenke mu bafumbo naddala abakyala n’abawala abato abatannafumbirwa.

Embeera eno y’eri ne ku Muky. Beatrice Nkonge, omutuuze w’e Nakabugo ku luguudo lw’e Mityana, bba bwe yagattiddwa mu Lutikko e Namirembe n’omukazi omulala sso nga baali baabagatta dda mu 1988 mu kkanisa y’emu!

Bba yagattiddwa mu mbaga ey’ekikungo omwezi oguwedde, muwala we Grace Namazzi, eyabadde agenze okuyambako okuyimbira abagole mu Lutikko yazirise ng’alaba kitaawe ali mu bagole agenda okugattibwa!

 
 uky eatrice konge Muky. Beatrice Nkonge.

 

Muky. Nkonge attottola ebyaliwo ebiwuniikiriza:

Mu 1988 nagattibwa ne baze Douglus Diika Nkonge mu bufumbo obutukuvu e Namirembe .

Twafunamu obuzibu ng’obufumbo obulala bwe buba, ekinneewuunyisa kwe kuba nga baze amanyiddwa ennyo ng'Omukristaayo eyaweereza nako mu kkanisa ng'omuwandiisi w’abaami abafumbo e Bbira, ate yazzeemu okugattibwa nga 22/07/2017 e Namirembe!

Nze nno nkitwala nga kumanyiira Kkanisa, kuba mu mbaga eno ey’ekikungo, ye yali omugole eyasooka okugattibwa!

Olw’okuba ekikolwa kye baakola tekyali kya butuukirivu, ne Katonda yakiraba era yatonnyesa n’enkuba eyalimu ne kibuyaga ku mukolo ogwo ogw'okugattibwa kw’abagole bano!

Nze ndowooza nti ebikolwa nga bino bwe binaagenda mu maaso ng'abavunaanyizibwa okugatta abagole tebafaayo kukola kunoonyereza kumala, kigenda kumalamu abawala abato abatannafumbirwa amaanyi era tebalyegomba kugattibwa mu Kkanisa.”

Rev. Samuel Muwonge avunaanyizibwa ku by’okubunyisa enjiri mu Bulabirizi bw’e Namirembe annyonnyola:

Bwe tuba tugenda okugatta abagole tusooka ne tulanga mu kkanisa, abagole gye basabira ezisangibwa mu bitundu eby’enjawulo gye babeera.

Bwe watabaawo muntu yenna avaayo kubaako nsonga ya mazima yonna gy’ayogera erobera abagole okugattibwa ffe tugenda mu maaso n'okugatta abagole kubanga tuba twalanga mu kkanisa.

Tukkiriza omuntu yenna okugattibwa nga bazadde be bamuwadde ebbaluwa emukkiriza era bwe baba nga tebamuwadde bbaluwa tumuyambako okugifuna, bwe bigaana nga tumuvaako.

Ssinga omuntu yenna aba n’ensonga gy’aleeta oluvannyuma lw’embaga okubaawo, alina kututuukirira mu ofi isi yaffe e Namirembe ensonga ne tuzimaliriza.”

 

Omusumba Festo Kalungi, Viika w’e Namirembe annyonnyola engeri entuufu omuntu aba agenda okugattibwa gy’alina okuyitamu:

Ekkanisa etegeka okugatta abagole okw’awamu era amakanisa ag’enjawulo gaweerezebwa amabaluwa ne baweereza amannya g’abantu ab’enjawulo ababa baagala okugattibwa.

Abantu ab’enjawulo batuukirira abavunaanyizibwa okukola ku nsonga y’okugatta okuva mu busumba obw’enjawulo ne beewandiisa Tubatuma ebbaluwa okuva mu bazadde, ezikakasa oba babakkirizza okugattibwa oba tebabakkirizza era bwe balemererwa okuleeta ebbaluwa ezo tubayambako okuzifuna, bwe bigaana tetubagatta.

Tubasaba okuleeta abantu babiri okuli mettulooni ne kalabaalaba w’omugole omusajja, be bakola ng’abajulizi ku bagole bano ababa bagenda okugattibwa era bwe baleetebwa tubabuuza bwino akwata ku bagole bano gwe tugenderako.

Tuweereza amabaluwa mu busumba obw’enjawulo obugwamu amakanisa abagole abagenda okugattibwa mwe bava.

Ebbaluwa okuva mu bazadde bagiweereza mu busumba obw’enjawulo ne mu makanisa era ababuulizi ne batandika okulanga ebirango mu makanisa emirundi esatu okumala omwezi mulamba.

Bwe watabaawo muntu yenna avaayo kubaako nsonga gy’ayogera ku bagole ababa bagenda okugattibwa, okugatta kugenda mu maaso.

Ekirango kino kigenda mu maaso ne kirangibwa ne mu kkanisa e Namirembe okumala emirundi esatu mu mwezi era bwe watabaawo muntu yenna avaayo kuleeta bwino alobera abagole okugattibwa, omukolo gw’okugatta gugenda mu maaso.

Ne ku lunaku lw’okugatta abagole, ekirango kino kisooka ne kisomebwa eri Abakristaayo, bwe wataba awakanya olwo Omulabirizi agenda mu maaso n’omukolo gw’okugatta abagole.

Abagole bonna abagattibwa ffe ng’Ekkanisa tubawandiisa mu Gavumenti ebiraga nti bagattibwa mu bufumbo obutukuvu.

Ssinga omuntu avaayo n’alumiriza omu ku bagole aba yagattiddwa nti baali baabagatta dda, era n’aleeta ne satifi keeti y’obufumbo, omuntu oyo ayitibwa ne tukebera mu biwandiiko byaffe era bwe kizuuka nti kituufu satifikeeti eyamuweereddwa tugimuggyako ne tugisazaamu kubanga obufumbo bwe obwokubiri bubeera bwa kifere. Ensonga ezaabaddewo mu kugatta omwezi oguwedde twaziwulidde ffe ng’abaweereza abavunaanyizibwa era n’omukyala eyasooka okugattibwa ne Nkonge yatutuukirira.

Ensonga z’ayogerako ntuufu okusinziira ku biwandiiko bye tulina eby’abantu abaagattibwa era tuzikolako.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.