TOP
  • Home
  • Agawano
  • Asabye Kaliisoliiso anoonyereze ku byobugagga by’owa Bbanka Enkulu

Asabye Kaliisoliiso anoonyereze ku byobugagga by’owa Bbanka Enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2017

MUNNAMATEEKA w’omu Kampala Denis Nyombi addukidde ewa Kaliisoliiso wa Gavumenti ng’asaba wabeewo okunoonyereza ku mukungu wa Bbanka Enkulu olw’ebyobugagga enkumu by’akuhhaanyizza mu kaseera akatono ddala.

Irene703422 703x422

Kaliisoliiso wa Gavumenti, Irene Mulyagonja

Denis Nyombi owa kkampuni ya Bannamateeka eya Denis Nyombi & Co. Advocates agenze ewa Kaliisoliiso wa Gavumenti (IGG), Irene Mulyagonja nga yeemulugunya ku byobugagga enkumu eby’omukungu wa Bbanka Enkulu, Justine Bagyenda gw’ayagala IGG anoonyerezaako okuzuula wa gye yaggya ebyobugagga ebingi bityo.

Bagyenda y’akulira ebyokulondoola Bbanka z’Obusuubuzi mu Bbanka Enkulu era gye buvuddeko, Gavana wa Bbanka Enkulu, Polof. Emmanuel Mutebile yategeeza nti y’alina (Bagyenda) okuddamu ebibuuzo byonna lwaki Crane Bank eya Sudhir Ruparelia yatuuka mu mbeera ey’okugiggazaawo nga Bbank Enkulu terina ky’emanyi.

Munnamateeka Nyombi yagambye nti alina olukalala lw’ebyobugagga bya Bagyenda omuli n’amayumba ag’ebbeeyi mu bitundu eby’ ebbeeyi okuli; Ntinda, Makerere, Naggulu, Bukoto, Bugoloobi ne Mbuya era ayagala IGG amunoonyerezeeko okuzuula oba ebyobugagga Bagyenda teyabifuna ng’ayita mu buli bw’enguzi n’okukoseza obubi ofiisi ye.

“Etteeka erya Whistle Blowers Protection ACT 2010, likkiriza omuntu yenna alina amawulire ag’omugaso mu kulwanyisa enguzi n’obulyake okugatwala ewa IGG okunoonyereza era enkyo kye nkoze”, Nyombi bwe yategeezezza.

” Yagambye akoze okunoonyereza mu ofiisi y’ebyettaka n’akizuula ng’amayumba ag’ebbeeyi mu bifo eby’ebbeeyi gali mu mannya ga Bagyenda era obujulizi bwonna okuli n’ebifaananyi by’amayumba yabitadde mu kiwandiiko kye yatutte ewa IGG.

“Wadde Bagyenda afuna omusaala gwa bukadde nga 32 buli mwezi, ebyobugagga by’akuh-haanyizza mu kaseera akatono tebigya mu musaala ogwo,” Nyombi bwe yagambye.

Nyombi yeegasse ku Bannayuganda abalala abeesimbye mu Bbanka Enkulu olw’obunafu bwe yayolesa mu nsonga za Crane Bank gye yeddiza nga October 20, 2016 oluvannyuma nga January 27, 2017 n’egiguza bbanka ya DFCU.

Dick Kimeze, naye eyagenze ewa IGG nga August 11, 2017 ng’ayagala Bagyenda okunoonyerezebwako ku bigambibwa nti yeeyambisa ofiisi ye okwegaggawaza.

Munnayuganda omulala Derrick Nsereko ye yawawaabidde Bbanka Enkulu ng’ayagala kkooti okugisalira (Bbanka Enkulu) okulemererwa okukola emirimu gyayo egy’okulabirira n’okulondoola Crane Bank.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana