TOP

Engeri owa Yinsuwa ya Excel gye yafudde

By Edward Luyimbazi

Added 21st August 2017

DAVID Mukasa Walakira, omu ku baatandikawo kkampuni ya Yinsuwa eya Excel Insurance Company Limited afiiridde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gye yatwaliddwa okujjanjabibwa.

Sinzi1 703x422

Amaka g'omugenzi Walakira agasangibwa e Bugoloobi

Bya EDWARD LUYIMBAAZI

DAVID Mukasa Walakira, omu ku baatandikawo kkampuni ya Yinsuwa eya Excel Insurance Company Limited afiiridde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gye yatwaliddwa okujjanjabibwa.

Okusinziira ku Lydia Muganga avunaanyizibwa ku mbeera z’abakozi mu kkampuni eno, Mukasa aludde ebbanga nga mulwadde oluvannyuma lw’okulumbibwa obulwadde obutategeerekeka ekyamuwalirizza okusooka okuwummula emirimu gya kkampuni.

Yafudde ggulo ku makya. Muganga yagambye nti Mukasa ne banne okuli Dr. Arthur Katongole, Polof. Ddumba Sentamu ne Rosemary Nabadda be babadde baddukanya kkampuni eno era ye oluvannyuma lw’okufunamu obukosefu, emirimu abadde yagivaako n’agirekera Richard Musiitwa n’olukiiiko lwe.

Agambye nti Mukasa ne banne baatandikawo kkampuni eno mu mwaka gwa 1997 era nga kati emaze emyaka 25 ng’eri mu mulimu gwa yinsuwa mu ggwanga.

 bamu ku baasangiddwa mu maka gomugenzi eggulo Abamu ku baasangiddwa mu maka g’omugenzi eggulo.

 

OMUGENZI ABADDE AYAGALIZA BULI OMU

Muganga yayogedde ku Mukasa ng’abadde omusajja ayagaliza buli muntu era buli mukozi we mu kkampuni eno eya Excel abadde amwagazisa okukola.

Ababadde bafuna omukisa okumusisinka mu ofiisi ye, abadde abakuutira okwagala ensi yaabwe.

Yamwogeddeko nti Mukasa teyakoma ku kwagala bakozi be kugenda mu maaso, wabula nga naye muyiiya nnyo era kumpi buli mwezi ng’aleetayo akapya okutwala kkampuni mu maaso.

 

ENTEEKATEEKA Z’OKUZIIKA

  • Omulambo gwa Mukasa gwasuze mu kkampuni emu evunaanyizibwa ku kuteekateekera abafu era nga gugenda kuggyibwayo leero (ku Mmande) gutwalibwe mu maka ge agasangibwa e Bugoloobi ku Bandali Rise mu munisipaali ye Nakawa.
  • Ku Lwokubiri gugenda kutwalibwa mu kkanisa ya Bugoloobi C.O.U ku ssaawa 4:00 ez’enkya.
  • Eno gye banaava okugutwala mu kyalo e Kimwanyi mu Lweongo gy’anaaziikibwa ku ssaawa 8:00 ez’omu ttuntu ku Lwokusatu. l Mu kiseera kino bakyalinda lipoota okuva mu basawo okubabuulira obulwadde obwasse omuntu waabwe.
  • Abaana ne nnamwandu bakyali bweru wa ggwanga naye basuubirwa okukomawo olwaleero ku Mmande beetabe mu nteekateeka z’okuziika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana