TOP

Omukozi wa MTN afudde mu ntiisa

By Vivien Nakitende

Added 21st August 2017

OMUKOZI wa kkampuni y’Ebyempuliziganya eya MTN yavudde awaka okugenda okukola nga bulijjo.

Nassozi1 703x422

Omugenzi Nassozi (wakati) ne bakadde be lwe yatikkirwa mu 2009.

Bya VIVIEN NAKITENDE

OMUKOZI wa kkampuni y’Ebyempuliziganya eya MTN yavudde awaka okugenda okukola nga bulijjo.

Kyokka akawungeezi ng’abawaka bamulinze okudda, baafunye ssimu okuva ku mulimu nti banone omulambo.

Viola Nassozi 29, omu ku bakaawonawo abaasimattuka bbomu z’e Lugogo mu July 2010, abadde akola mu kkampuni ya MTN mu kitongole kya Customer Care, kyokka yafiiridde ku mulimu mu ngeri etetegeerekeka nga n’okutuusa kati aba kkampuni tebannavaayo kubuulira bazadde be ekyasse muwala waabwe.

Kitaawe, David Ssozi nga mutuuze mu zooni ya Nabisaalu, mu munisipaali y’e Makindye yategeezezza nti omwana we tabadde mulwadde era tabadde na mbeera yonna eyinza kumutuusa kufa kibwatukira. Kwe kugamba nti ayagala aba MTN bamunnyonnyole enfa y’omwana we.

Nassozi yakedde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde nga August 15, 2017 okugenda ku mulimu nga bulijjo nga talinaako wamuluma oba okulaga embeera ey’obulwadde.

Wabula akawungeezi ab’awaka baafunye essimu nti afudde, bonna be beekanga.

“Muwala wange abadde abeera e Makindye, yakedde bulungi ku Lwokusatu okugenda ku mulimu nga bulijjo, nga mulamu bulungi kuba mbadde sirina bulwadde bwonna bwe mumanyiko.

mugenzi assoziOmugenzi Nassozi

 

Wabula akawungeezi, twafunye essimu okuva mu MTN nga batugamba nti tugende mu ddwaaliro ekkulu e Mulago tukimeyo omulambo gwa Nassozi kuba afudde”, Ssozi bwe yagambye.

“Twatuuse e Mulago nga ddala muwala wange ataabadde na wantu wonna wamuluma, nga mufu.

Twabuuzizza abasawo ekimusse ne batuteteeza nti tulindemu wiiki bbiri bajja kutuwa ebbaluwa ey’eddwaaliro eya ‘Post Mortem Report’ ejja okutulaga ekyamusse.” Ssozi bwe yannyonnyodde ng’amaziga gamuyitamu.

Yagasseeko nti, “Aba MTN nabo twababuuzizza ekisse Viola naye nga bagamba tebamanyi.

Tewali muntu atuwa kituufu kyasse mwana waffe, oba yanywedde butwa, oba balina kye baamukoze, teri amanyi kubanga tebannatubuulira mazima.”

Maama azirise Maama wa Nassozi, Mary Nevis Naluswata yazirikiddewo lwe baamubikidde muwala we.

Yasoose kukaaba nga bw’agamba nti; kale omwaka wange yasimattuka bbomu, kati afudde mu bintu bye tutategeera!

“Okufa kwa Nassozi ddibu ddene nnyo eri famire yaffe.

Tubadde tumulinamu essuubi ddene kuba abadde atuyamba mu bingi, nnina ebiwundu ku mutima era simanyi nti kinaawona,” Naluswata bwe yawanjaze n’ekyaddiridde kugwa eri n’azirika.

Yazirise n’atwalibwa mu ddwaliro gye yaweereddwa ekitanda nga Puleesa ye eri waggulu era ali mu mbeera ssi nnungi.

Nassozi yasimattuka bbomu z’e Lugogo nga July 11, 2010 wabula muganzi we Simon Kigoonya ye yafiira mu bbomu ezo era Viola banne babadde baamukazaako lya ‘Kaawonawo’.

 mugenzi assozi Omugenzi Nassozi

 

Aba MTN kye bagamba

Justine Ntabgoba Kayemba, omwogezi wa kkampuni ya MTN agambye nti, Nassozi abadde akola mu limu ku maduuka gaabwe aga Service Centre ku luguudo lwa Kampala Road, nti wabula nabo tebamanyi kyabaddewo kuba yazirise ne bamuddusa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde, nga kati nabo balinze lipoota y’abasawo okubategeeza ekituufu ekyamusse.

“Sisobola kukugamba kituufu kyavuddeko Viola okufa. Naye okufa kubaawo mu buli mbeera, kale tetumanyi kituufu, tulinze basawo kutubuulira,” Ntabgoba bwe yagambye.

Nassozi y’ani?

Muwala wa David Wamala Ssozi ne Mary Nevis Naluswata abatuuze ba zooni ya Nabisaalu e Makindye.

Abadde mukozi mu kitongole ekibudaabuda abantu (Customer Care) mu kkampuni ya MTN.

Yasomera ku Minac Nursery & P/S e Kibuye, Military P/S e Makindye gye yatuulira ekyomusanvu, yeegatta ku Lubiri High School gye yatuulira siniya eyookuna, n’agenda ku St. Mary’s SS e Kitende gye yatuulira siniya eyoomukaaga.

Yeegatta ku yunivasite e Makerere n’afuna diguli mu mbeera z’abantu (SWASA) mu 2009.

Yali yaakamaliriza diguli ne yeegatta ku kkampuni ya MTN okutuusa mu 2017.

ABADDE YEETUMA YEKKA

“Omwana wange abadde mukozi, nga talinda kumulagira, nga yeetuma buli kimu.

Aba MTN bennyini be baamunsaba ku lunaku lwe yatikkirwa ku mikolo kuba baaliko ne bangamba bamuwadde omulimu era enkeera n’atandikirawo okukola, kuba yali akoleddeyo okugezesebwamu (Internship).

Nnasanyuka ng’omuzadde olw’omwana okufuna omulimu, naye laba ebivuddemu! Simanyi kya kulowooza essaawa eno,” Ssozi bwe yagakaabye.

Nassozi yaziikiddwa ku Lwokutaano, ku biggya bya bajjajjaabe e Mugongo Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso wakati mu kwaziirana.

Mikwano gye nagyo gyamwogeddeko ng’omuwala ow’enjawulo abadde teyeeganya mirimu ate ng’akolagana na buli omu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...