TOP

Omusajja y'etugidde mu kiyigo n'afa!

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2017

Omusajja y'etugidde mu kiyigo n'afa!

Kk1 703x422

John Sserwadda ne mukyala we ku ddyo

ABATUUZE bo mu Kimwaanyi zooni, Ggangu B , mu Wakiso disitulikiti bagudemu entiisa bwe basanze omulambo gwa mutuuze munnaabwe nga yeetugidde mu nnyumba ye.  

John Sserwadda , 35 abadde makanika w’emottoka e Katwe y’asangiddwa nga yeetugidde mu kinaabiro kye.   Abamu ku batuuze abogedeko ne Bukedde bategeezezza nti omugenzi alude nga mulwadde wabula kyandiba nga mukyala we, Racheal Namutebi, bweyagenda n’abaana baabwe Pius Sserwadda ow’emyaka etaano ne Patricia Nalwadda ow’emyak ebiri kyandiba nga kyamumazeemu amaanyi n’asalawo yeetuge.

Justine Nanziri, mulamu w’omugenzi annyonyodde nti ku Mmande yagenda mukyalo ne Namutebi wamu n’abaana be okuzimbira nnyabwe ennyumba.

Ku ssaawa munaana yakomyewo n’abaana ng’ abaletedde muko n’asanga ng’enju nzigale ate ng’ akuba essiimu ya mulamu we nga kweri naye nga tagikwata.

Agamba nti yasazeewo okutegeeza musomesa Janat eyategeezezza maama Nabisere ne bagenda ku poliisi y’e Kibiri ebaddukiride.

Poliisi yazze n'emenya oluggi ne basanga nga  Sserwadda alengejjera mu kinaabiro kye.

Hamza Ladu, mulirwaana w’omugenzi agamba nti babade bamaze enaku satu nga tebalaba munaabwe era nga baagendako ne ku mulimu gy’abade akolera ne babategeeza nti nabo balude nga tebamulaba.

Mu kinaabiro musangiddwaamu akatebe ka pulasitika akeeru nga kalimu omuto gw’entebe nga kiteeberezebwa nti kweyalinye okusobola okutuuka ku muti gw’omukinaabiro mweyasibye ekigoye neyeetuga.

Hassan Katende mukwano gw’omugenzi ategezeeza Bukedde nti Sserwadda alese ennyumba satu, okuli mw’abade asula, enju y’abapangisa, n’enju ebade tennaba kuggwa,emottoka bbiri ekika kya Elfu ne Pikipiki,  omukazi n’abaana babiri.

John Gavin Vichuri  akulira poliisi y’e Kibiri ategezeezza Bukedde nti poliisi yategeezeddwa nti waliwo omusajja ateeberezebwa okuba nga yesibidde mu nju, nti essimu ze teziyitamu naye tebamanyi ky'amutuseeko.

   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Han1 220x290

Minisita w'ebyemizannyo omuggya...

Minisita w'ebyemizannyo omuggya Hanson Denis Obua asiimye omulimu ogukoleddwa Omugagga Ham ogw'okuzimba ekisaawe...

Bbomu3 220x290

Omuyeekera aweddeyo eby'okulwanyisa...

AGAMBIBWA okubeera omuyekera w’akabinja ka M23 eyayingira mu ggwanga nga yefudde abundabunda ne yewaayo mu mikono...

Poliisi yeezoobye n'aba Bodaboda...

POLIISI ekubye omukka ogubalagala mu bavuzi ba bodaboda mu Kampala okubagumbulula bwe babadde bagezaako okulaga...

Yasanze malaalo ng’atutte ebya...

EYASIBA sumbuusa nga tayogera na mwagalwa we baakamutemye atutte kimuli kya Valentine nti oli yafa dda!

Chrisevans 220x290

Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba...

NGA Chris Evans tannasimbula kugenda Masaka mu kivvulu kya Rema Namakula ekyabadde ku Maria Flo, maneja wa Rema,...