TOP

Kamoga ne banne 5 babasingisizza ogw'obutujju

By Joseph Makumbi

Added 21st August 2017

Kamoga ne banne 5 babasingisizza ogw'obutujju

Kam1 703x422

Sheikh Yonus Kamoga ne banne mu kkooti

ABALAMUZI basatu aba kkooti enkulu mu Kampala, bawadde ensala yaabwe mu misango egibadde givunaanibwa Sheikh Yunous Kamoga eyali akulira Abatabbuliiki mu Uganga ne banne 13 n’ebamusingisaako gumu gwokka.

Kamoga ne banne 5 okuli abdul Salam Ssekayanja, Murtad Bukenya, Siraje Kawooya, abdul Hamid Ssematimba ne Yusufu Kakande baabasingisizza omusango gw’obutujju ne babejeereza ku misango gy’okutemula Sheikh Hassan Kirya, Sheikh Mustapha Bahiga n’okugezaako okutta Sheikh Haruna Jjemba.

Ate abalala munaana bebabadde bavunaanibwa nabo okuli; Musa Isa Mubiru, Twaha Ssekitto, Hamza Kasirye, Fahad Karungi, Hakim Kinene, Amir Kinene, George William Yiga ne Rashid Jjingo, bejjeerezeddwa era abalamuzi nebabategeeza nti tebalina musango gwonna.

Munnamateeka waabwe, Mcdusman Kabega asabye abalamuzi nti engeri kkooti gyeyejeerezza abantube, babamuwe agende nabo era omu ku balamuzi n'amutegeeza nti waddembe okubatwala kyokka n’asaba n’ebintu by’ababiri ebyakwatibwa bibaweebwe ekitasobose mu budde obwo.

Abasiraamu babadde bayitirivu ku kkooti nga balina essuubi nti eyali mukama waabwe bagenda kuddayo naye oba olyawo bamukolereyo akabaga wabula tekisobose era bannamateeka ababadde bawolereza Kamoga ne banne abataano, ababadde bakulembeddwa Fred Muwema, basigadde beetala ku kkooti nga banoonya kyebazaako.

Okusinziira ku ngeri Abasiraamu gye babadde baagalamu obuwanguzi mu musango guno, n’esswala ezisinga bazisaalidde ku kkooti.  

Eby’okwerinda bibadde by’amaanyi nnyo abaserikale ababuli kkala nga beetala okuva kuno nga badda kuli nga bwebakutte emmundu ennene eziriko n’enjegere z’amasasi wamma ng’oyinza okugamba nti  luno lutalo lwennyini.

Kamoga ne banne abataano baakuzzibwa mu kkooti olunaku lw’enkya okuweebwa ekibonerezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono