TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikkiro ayongedde okulambulula ku nsonga z'ettaka mu lukiiko lwa Buganda

Katikkiro ayongedde okulambulula ku nsonga z'ettaka mu lukiiko lwa Buganda

By Dickson Kulumba

Added 21st August 2017

Katikkiro ayongedde okulambulula ku nsonga z'ettaka mu lukiiko lwa Buganda

Kat1 703x422

KJatikkiro Charles Peter Mayiga ngayogera mu lukiiko

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asinzidde mu lutuula lw’Olukiiko lwa Buganda olusooka e Bulange- Mmengo olunaku lwa leero n'alabula aba famire ya Ssekabaka Daudi Chwa II abakayanira ettaka ly’Obwakabaka n'ategeeza nti Obwakabaka tebulina muntu gwe bugenda kuganya kutwala ttaka lyabwo.

Mayiga agambye  nti ennaku zino waliwo abantu  bangi abefunyiridde okutwala ettaka ly’Obwakabaka nga baligattika n'eryo erya Ssekabaka Daudi Chwa II era wetwogerera ng’emisango egisukka 40 giri eyo mu kkooti.

Ensonga y’okuwaabira Kabaka yeralikiriza abantu ba Kabaka naye bwebawabira Kabaka wa Buganda, babeera bawabidde Obwakabaka okutwalira awamu n’e Bungereza, Kwiini baamuwaabirako

Amateeka bwe gatyo bwe gali nti obwetengereze bwaffe mu mateeka buli mu linnya Kabaka wa Buganda era Ssabawolereza agenda kwogera ku nsonga eno.

Abakiise bonna nga basirise bawuliriza, Mayiga alambuludde n'agamba nti Endagaano ya 1900 yeyaleeta enkola ya mayiro  era mayiro 350 z'ategekebwa nga za Nkuluze, Kabaka abeera ku Nnamulondo yazikuma si za bwannanyinni.

Daudi Chwa II naye yagabana  ettaka lye ng’omuntu n'aligabira abaana be naleekawo mayiro 27 zeyagamba nti ziriweebwa abaana abo abalizaalibwa ng’ekiramo kikoleddwa,teyakwata ku 350, Mutabani we Muteesa II teyakwata ku ttaka lino ate Muzzukkulu we  Kabaka  Mutebi II kakati yalikuuma.

Ng’akangudde ku ddoboozi Mayiga yayongedde nagamba nti “Amateeka amalala agayisibwa nga 1908, 1919, ssemateeka wa 1967 n’amalala agaddirira emitawaana gya 1966 ettaka lino galitwala era etteeka lya 1993 eryaza ebimu ku byaffe ne Ssemateeka wa 1995 n’endagaano Kabaka gyeyakola ne Pulezidenti  mu 2013 essira galiteeka ku ttaka entongole ery’Obwakabaka. Ettaka lya Ssekabaka Daudi Chwa II tewali weriyingirramu kubanga gavumenti teritwalanga wadde eya Obote.

Abo abalikayanira bakikola mu bukyamu. Kyokka waliwo ekkobane erikolebwa abantu abamu abeefula nti bamanyi enjawulo wakati w’ettaka lya Chwa neerya Buganda. Tewabeerawo abalimba nti tugenda kubanyaga.

Balowooza tuli awo, anti akalinabiri…Tetugenda kubaganya.”  Bino webijjidde ng’abamu ku bazzukkulu ba Chwa II bavaayo nebawakkanya enkolagana ya Buganda Land Board ne UNRA ku ttaka erisangibwa ku bbuloka 273 e Masajja nga UNRA eyagala okuyisawo oluguudo nekibeera nga UNRA erina okusasula BLB ensimbi eziri mu buwumbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rally 220x290

Laba ebbinu eribeera mu mmotoka...

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu.Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa...

Thumbnailrevmwesigwabyjmutebi5 220x290

Rev. Mwesigwa ebintu bimukyukidde:...

REV. Isaac Mwesigwa poliisi bwe yamukwasa aba famire ye, yalowooza nti ebintu biwedde kyokka ebigambo byamukalidde...

Mze 220x290

Owapoliisi atuuyanye mu gwa Kanyamunyu...

OMULAMUZI Steven Mubiru akiguddeko oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyabadde azze okulumiriza Mathew Kanyamunyu...

Bobi 220x290

Mayinja ensi ekulaba - Bobi

Bobi yasabiddwa okwongera okuttaanya ku njawukana eziriwo wakati w'abakulembeze ba People Power ne Ronald Mayinja...

Audience 220x290

Akubye amasasi mu badigize n'attirawo...

OMUVUBUKA alumbye abadigize mu bbaala n’abasindirira amasasi agattiddewo abantu mwenda. Poliisi bw’egezezzaako...