TOP

Ow’emyaka 46 afi iridde mu nnyumba

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2017

ABATUUZE b’oku kitundu kya Katale mu muluka gwa Makindye I baguddemu eky’ekkango bwe basanze mutuuze munnaabwe ng’afi iridde mu nnyumba.

46 703x422

Abamu ku batuuze nga balingiza mu nnyumba omubadde omulambo gwa Manji mu katono.

Bya SANDRAH NAMIRIMU

ABATUUZE b’oku kitundu kya Katale mu muluka gwa Makindye I baguddemu eky’ekkango bwe basanze mutuuze munnaabwe ng’afi iridde mu nnyumba.

Olivia Manji, ow’emyaka 46 yasangiddwa munne gw’abadde abeera naye mu nnyumba ng’afudde oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’ebizimba mu lubuto era ng’abatuuze bateebereza nti bye byamusse.

Ruth Kitondekijja, abadde abeera ne Manji yategeezezza nti yalese amuzuukusizza ku ssaawa 11:00 ez’oku makya okugenda okukola era ye n’amuleka ng’azuukuse wabula yagenze okudda ku ssaawa 4:00 ez’oku makya yamusanze agudde mu bbaafu gy’abadde ayolezaamu.

Kitondekijja agamba nti ekiro, Manji yamugambye nti teyeewulira bulungi era n’amugamba akeere mu ddwaaliro wabula kyamuweddeko ng’afudde kwe kuyita abatuuze okumuyamba ku munne.

Ssentebe w’ekyalo kino, Richard Kigongo agamba yategeezeddwa nga Manji afudde era n’atuuka mu kifo n’asaba abatuuze bakkakkane nga bwe balinda poliisi.

Yagambye nti abantu balina okwewandiisa mu byalo gye babeera kyanguyire abakulembeze okubaawula nga bafunye obuzibu.

Akulira ebyokwerinda ku lukiiko lw’ekyalo kya Katale, Mohammad Ssekandi yasabye abantu okweyisa obulungi kubanga omukyala ono ayambiddwa abatuuze nga n’abooluganda be tebannatuuka era baagenze okutuuka ng’embeera eri bulungi.

Yabasabye okukolagana ne poliisi ebayambe mu bye bakola. Florence Musiime, omu ku mikwano gy’omugenzi agamba poliisi ebamazeemu amaanyi kubanga yategeezeddwa nga baakazuula omufu wabula etutte ebbanga ddene okutuuka nga ne bw’etuuse bakubye bifaananyi byabwe ne bagenda nga tebabategeezezza kiddako.

Asabye poliisi okukomya okuyisa mu bantu amaaso era nti y’ensonga lwaki abatuuze abalala bava mu mbeera ne balwana nayo ng’emitawaana nga gino giguddewo.

Abatuuze baategeezezza nti Manji abadde mutuuze mulungi era ng’atera okuyamba abalala ate nga tava mu Kkanisa.

Jenaro Odarau atwala poliisi y’e Nabisaalu etwala ekitundu kino agaanyi okubaako ky’ayogera ku nsonga eno wabula nti alinda bakulu abamutwala bajje beekebejje omulambo wabula nga bano tebaalabiddwaako okutuusa abaserikale abalala lwe baatuuse n’omukugu okuva mu kitongole kya poliisi ekinoonyereza bwe bazze n’abakkiriza okukola ku mulambo.

Omugenzi waakuziikibwa mu disitulikiti y’e Paliisa ku kyalo Kabwendasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali