TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abalumiriza Sheikh Mwanje okutta bba wa Maama Fiina batidde okujja mu kkooti

Abalumiriza Sheikh Mwanje okutta bba wa Maama Fiina batidde okujja mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2017

ABAJULIZI abagenda okulumiriza Sheikh Yahya Mwanje bagaanye okujja mu kkooti okuwa obujulizi olw’obutabaawo ngeri feesi n’ebibakwatako gye bikwekebwa.

Mwanje 703x422

Sheikh Yahya Mwanje (wakati) ng’aliko by’ategeeza looya we Roberts Kagolo. Ku ddyo ye Muhammad Buyondo omu ku bwe bavunaanibwa.

BYA ALICE NAMUTEBI

Bino byayanjuddwa omuwaabi wa Gavumenti, John Baptist Asiimwe, oluvannyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu Wilson Kwesiga okuyita fayiro y’omusango gutandike okuwozesebwa.

Eggulo ab’oludda lwa Sheikh Mwanje bazze mu bungi mu kkooti enkulu omusango guno gutandike okuwozesebwa wabula abajulizi okuva ku ludda oluwaabi ne batalabikako.

Asiimwe yagambye nti bakyetegereza engeri y’okukuumamu abajulizi baabwe eri abantu abayinza okubakolako obulabe era nga kino kigenda kubatwalira akaseera kubanga abamu batya okujja mu kkooti.

Enkola y’okukweka abajulizi ezze ekozesebwa mu misango egy’amaanyi nga ogw’obatujju abaatega bbomu e Lugogo n’ogwa Sheikh Muhammad Yunus Kamoga ogwasaliddwa ku Mmande ya wiiki eno.

Abajulizi ababa batya okuwa obujulizi mu lujjudde emirundi egimu babadde bakkirizibwa okuwa obujulizi nga mu kkooti temuli bantu era ne bannamawulire ne batakkirizibwamu kyokka abamu bambazibwa obukookolo nga tebasobola kutegeerekeka.

Omulamuzi Kwesiga yagambye nti yadde ng’oludda oluwaabi lutegeka kubaako ngeri gye lukuumamu abajulizi baalwo, eno si nsonga ebasabisa wiiki ssatu ze baabadde baagala n’abawa amagezi beetegeke kubanga waliwo abaserikale abatatya kuwa bujulizi bwabwe mu lujjudde era n’alagira nti nga September 7, 2017 agenda kutandika okuwulira omusango guno.

Yalagidde oludda oluwaabi okuwa balooya ba Sheikh Mwanje obujulizi bwonna bwe bagenda okwesigamako nabo basobole okuteekateeka engeri gye baneewozaako.

Mwanje avunaanibwa n’aba bodaboda babiri okuva ku siteegi y’e Nsangi Muhammad Buyondo ne Abdu Wahab Ssendegeya kw’ossa omusuubuzi Musa Ssekandi mu musango guno.

Kiggundu yattibwa n’omukuumi we Sgt. Steven Mukasa nga November 26, 2015 e Masanafu mu Kampala ku ssaawa nga 1:00 ey’oku makya bwe baali bakedde ku leediyo kwe baabeeranga ne pulogulaamu buli Lwamukaaga.

Kiggundu ye yali bba wa Sophia Namutebi (Maama Fiina). Oludda oluwaabi lulumiriza Sheikh Mwanje nti ye yaluka olukwe n’afuna aba bodaboda bamukolere omulimu.

Balumiriza nti yali aludde nga yeewerera Kiggundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo