TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ndabye nnyo abaana bange bonna bagenda kufiira mu kkomera!

Ndabye nnyo abaana bange bonna bagenda kufiira mu kkomera!

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2017

Ndabye nnyo abaana bange bonna bagenda kufiira mu kkomera!

Yu1 703x422

Hajati Nassuuna, nnyina wa Kamoga.

HAJATI Aisha Nassuuna yasoose kukoteka mutwe, oluvannyuma ne yeewuunya nti; Allah, Allah, abaana bange bombi bafiire mu kkomera! Ne gye buli eno akyakaluubiriddwa okukkiriza nti batabani be babiri, baabasalidde kusibwa mayisa oluvannyuma lw’abalamuzi basatu okubasingisa omusango gw’okwenyigira mu butujju.

Nassuuna y’azaala Sheikh Yunus Kamoga ne Sheikh Murta Mudde Bukenya nga bombi baabasingisizza omusango era ne babasalira ekibonerezo kya kusibwa okutuusa lwe balifiira mu kkomera.

Kamoga 65, ye mwana we owookubiri ate Bukenya 54, ye muggalanda era yagambye nti okuva lwe baabasiba, obulamu bwe bwakosebwa nnyo n’ayenjebuka nnyo kubanga be baali bamulabirira n’okumufunira eddagala ku birwadde ebimutawaanya. Hajati Aisha Nassuuna Natembo mu kiseera kino wa myaka 90, era yasannyalala amagulu, abeera waka tavaawo.

 isha muwala wa heikh amoga yavumiridde gavumenti ku byokusiba kitaawe ano ge maka ga amoga Aisha muwala wa Sheikh Kamoga yavumiridde gavumenti ku by’okusiba kitaawe. Gano ge maka ga Kamoga.

 

Amaka ge galiraanye aga mutabani we Kamoga e Kawempe - Ttula. ALAAJANIDDE GAVUMENTI Nassuuna yagambye nti omusango abadde agugoberera era buli lwe babadde baleeta batabani be mu kkooti, ng’abazzukulu bagenda ewuwe ne bamuyitiramu ebibaddeyo.

Yagambye nti bye babadde bamunnyonnyola bibadde biwa essuubi kubanga bibadde biraga nti gavumenti terina bujulizi bwa ssimba bulumiriza baana be nti beenyigira mu butemu, okugezaako okutta omuntu oba obutujju.

Yannyonnyodde nti kyamuweddeko okuwulira nti ate babasingisizza ogw’obutujju ate ne babawa ekibonerezo ekinene ennyo eky’okusibwa okutuusa lwe balifa.

Yalaajanye nti: Gavumenti nsaba ebeere nnenkanya ku baana bange abo ne bannaabwe abalala; kubanga ekibonerezo ekyo tekikosa bbo bokka naye kikosezaamu n’abantu abalala bangi be beetaaga okulowoozaako.

Teebereza baabakwata ku nsonga ndala ate laba bwe babanyigako omusango gw’obutujju ogutaaliwo okuva olubereberye. Yawunzise agamba nti ensonga azikwasizza Allah y’asoboola n’okukyusa ebyo byonna ebyasaliddwaawo.

Zulayika Mbogo, mwannyina wa Kamoga yagambye nti okuva kkooti lwe yawadde ensala eno, embeera ya nnyaabwe yayongedde okwonooneka kubanga yabadde asuubira nti bagenda kwejjeerera bayimbulwe. Sheikh Kamoga ye yakima nnyina mu kyalo e Sseeta mu Butambala gye basibuka n’amuzimbira e Kawempe - Ttula w’abadde amulabiririra.

Ismail Matovu, muganda wa Kamoga yagambye nti Sheikh Kamoga yabategeezaako nga gavumenti bwe yali eyagala agyegatteko agikolere wabula n’abigaana era n’atandika okufuna ebizibu. Yagambye nti yagaanibwa okuddamu okugenda mu Kenya era baamukwatirako ne ku nsalo ne mukyala we ne babaggalira era yakosebwa nnyo ne mu by’ensimbi kubanga bizinensi nnyingi yali aziddukanyiza Kenya ng’alinayo n’ebyobugagga wabula byonna byagootaana kubanga yali takyakkirizibwa kugendayo kuzongeramu maanyi.

Yagambye nti ekibuuzo kikyali kinene ku b’ani abatta Abasiraamu kubanga kkooti yalaze nti Kamoga ne banne si be batta ate nga lipoota ku battiddwa tezifulumizibwanga! Yagasseeko nti: Sheikh Abdu Karim Sentamu, Mustafa Bahiga bombi baali mikwano gya Kamoga wabula baabatta ate Maj. Muhammad Kiggundu yali mukwano gwa Kamoga era nti Kamoga ye yamatiza Kiggundu okuyingira amagye wabula naye n’attibwa mu ngeri yeemu era ne watabeerawo lipoota yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga