TOP

Ebyafaayo bya Kamoga byewuunyisa!

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2017

Ebyafaayo bya Kamoga byewuunyisa!

Ko1 703x422

Sheikh Kamoga

AMIIRU w’Abatabbuliiki e Nakasero, Sheikh Muhammad Yunus Kamoga 55, eyasingiddwa ogw’obutujju n’asibwa obulamu bwe bwonna azze alwana entalo nkumu okuviira ddala nga muvubuka.

Sheikh Kamoga yasingiddwa omusango gw’obutujju ne Bamaseeka abalala mukaaga wabula ye (Kamoga) n’abalala basatu; Sheikh Murta Mudde Bukenya (muto wa Kamoga), Sheikh Siraje Kawooya ne Sheikh Fahad Kalungi baakaligiddwa kusibwa mayisa.

Kati essuubi lya Sheikh Kamoga okusimattuka ekkomero lisigadde mu kujulira bannamateeka be kwe baakoze okusazaamu ekibonerezo ky’okusibwa amayisa.

KAMOGA Y’ANI

Mohammad Yunus Kamoga yazaalibwa ku kyalo Sseeta okumpi ne Kaabasanda mu ssaza ly’e Butambala mu 1952.

Azaalibwa mu Sheikh Yunus Butannaziba.

Okusoma yakutandikira waka, nga kitaawe Sheikh Butannaziba y’amwesomeseza Kulaani n’ebirala ebikwata ku ddiini y’Obusiraamu okutuusa Kulaani yonna lwe yagikwata mu mutwe n’alyoka amusindika ku ssomero .

Pulayimale yagisomera Nsotoka Islamic Primary School e Ntenjeru mu disitulikiti y’e Kayunga wakati wa 1960 ne 1970.

Bwe yava e Nsotoka, Kamoga yayingira Kampala mu Bilaal Islamic Institute e Bwaise n’asoma eby’eddiini.

We yaviira ku Bilaal mu 1977, Kamoga yali afuuse Sheikh omujjuvu n’atandika okubuulira n’okusomesa eddiini ng’eno bw’akola obusuubuzi.

AYINGIRA OBUTABBULIIKI

Mu 1979, Sheikh Kagoma yakwatagana n’omugenzi Sheikh Maulana Muhammad Kizito Zziwa ne batandika okusaasaanya n’okusomesa enjiri ey’Obutabuliiki mu mizikiti egy’enjawulo mu Kampala.

Olwo Kamoga ne Zziwa ng’amakanda bagasimbye ku Bilaal okumpi n’essomero lya Bat Valley era baakunga Abasiraamu bangi naddala abavubuka ne babayingiza Obutabbuliiki nga babasomesa ennono n’enkola z’omubaka Muhammad (S.A.W) nga bavumirira Abasiraamu abaabya ennyimbe, abasoma Edduwa ne Mawuledi nti ebyo si nkola z’Omutume (Muhammad).

BAWAMBA OMUZIKITI

Enjiri yaabwe yanyinyittira ne bava ku Bilaal ne badda mu Kampala wakati e Nakasero gye baawamba omuzikiti okuva ku ‘Bazeeyi’ abaali bakulirwa Sheikh Twamulabirawo. Ekiseera ekyo Sheikh Zziwa we yatandikirawo ekibiina kya SPIDQA (Society for the propagation of Islam and distraction of Qadianism).

Nga bamaze okuwamba Nakasero, baalonda obukulembeze obupya, Sheikh Zziwa ne bamulonda nga ‘Chief Kaadhi’, Sheikh Abdul-Maalik nga ye Imaam w’omuzikiti, ate Kamoga nga y’akulira ebyokusomesa (Da’awah) ng’ali ne Sheikh Jamir Mukulu.

Nga waakayitawo akaseera katono baafunamu obutakkaanya, Sheikh Zziwa ne bamugoba e Nakasero ekifo kye ne bakironderamu Sheikh Zubair Bakari obwa Imaam ne buweebwa Sheikh Hakim Kimbowa, ye Zziwa n’asengukira mu Kisenyi gye yassa ekitebe kya SPIDQA.

Mu 1989, Kamoga lwe yalondebwa ku bukulembeze bw’Abatabuliki nga Amiiru oluvannyuma lw’okugobwa kwa Sheikh Zubair Bakari.

ENSIBUKO Y’EBIZIBU BYA KAMOGA

Mu 1991, Kamoga, Maj. Muhammad Kiggundu (omugenzi) ne Jamir Mukulu (kati ali mu kkomera) baaduumira ekibinja ky’abavubuka ku nfunda bbiri okuwamba ekitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde mu kiseera nga gukyali ku Namirembe Road (kati omukiziti gw’Abayindi aba Aga Khan), wabula ku lulumba olwokubiri mu March 1991, baafaafaagana ne Poliisi okukkakkana ng’abaserikale babiri battiddwa n’embwa za poliisi bbiri ne bazitemako emitwe.

Mu bulumbaganyi bano baatayirira ne bannamawulire abatali Basiraamu be baasanga nga basaka amawulire ku kitebe ky’Obusiraamu okwali Wakabi Wairagala.

Gavumenti yakwatirawo Abatabbuliiki 430 okwali ne Jamiru Mukulu ne batwalibwa e Luzira kyokka Kamoga yeemulula n’adduka mu ggwanga, ekiwejjowejjo Kenya gye yamala emyaka mwenda mu buwahhanguse .

Abatabbuliiki bonna abaakwatibwa gavumenti yajja ebayimbula mu bibinja ng’emisango gyabwe gigalangatanidde mu kkooti olw’obujulizi okubula.

Olwava e Luzira mu 1993, Jamir Mukulu n’akunga Abasiraamu okugenda mu nsiko era mu 1994 n’atandikawo ekibiina ky’Obuyeekera ekya ADF, enkambi n’agissa e Buseruka mu Hoima.

Kamoga azze yeegaana nti teyayingirako mu ADF, ng’alumirizza nti ebbanga lye lyonna ery’obuwahhanguse yalimala Mombasa mu Kenya ng’akola bibye kyokka abamanyi ebyomunda bagamba nti Kamoga kyenkana ye yali omumyuka wa Jamir Mukulu mu bya ADF.

Ebbanga lyonna lye yamala mu buwanguse, Sheikh Sulaiman Kakeeto ye yali akulira Abatabuuliiki e Nakasero. Nga July 11, 2000 Kamoga yakomawo oluvannyuma lwa gavumenti okumuwa ekisonyiwo.

Mu May 2010, Kamoga ne Bamaseeka abalala ab’oku William Street baalumba omukiziti e Nasekero ne baguwamba okukkakkana nga Amiiru Kakeeto bamuggyeewo, Kamoga ne yeddiza entebe y’obwa Amiiru.

Mu January 2015 ne Bamaseeka abalala baggulwako emisango egy’obutemu, okugezaako okutta omuntu, n’ogw’obutujju ogwamusinze n’asibwa amayisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...